-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 33:12, 13Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
12 Ennaku bwe yamuyitirirako, ne yeegayirira Yakuwa Katonda we amusaasire, era ne yeetoowaza nnyo mu maaso ga Katonda wa bajjajjaabe. 13 Ne yeeyongera okumusaba, era Katonda n’akkiriza okwegayirira kwa Manase n’awulira bye yamusaba, n’amukomyawo e Yerusaalemi mu bwakabaka bwe;+ awo Manase n’ategeera nti Yakuwa ye Katonda ow’amazima.+
-
-
Zabbuli 25:7Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
7 Tojjukira bibi bya mu buvubuka bwange na byonoono byange.
-