-
Ezeekyeri 1:27, 28Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
27 Awo ne ndaba bwe yali afaanana okuva ku ekyo ekyalabika ng’ekiwato kye okudda waggulu. Yali afaanana ng’ekyuma ekimasamasa+ ekyetooloddwa omuliro. Okuva mu kiwato kye okukka wansi yali afaanana ng’omuliro,+ era yali yeetooloddwa ekitangaala eky’amaanyi 28 ekyali kifaanana nga musoke+ aba ku kire ku lunaku olw’enkuba. Ekitangaala eky’amaanyi ekyali kimwetoolodde bwe kityo bwe kyali kifaanana. Kyali ng’ekitiibwa kya Yakuwa.+ Bwe nnakiraba, ne nvunnama wansi ne mpulira eddoboozi ly’oyo eyali ayogera.
-