-
Isaaya 51:22, 23Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
22 Mukama wo Yakuwa, Katonda wo alwanirira abantu be, bw’ati bw’agamba:
“Laba! Nja kuggya mu mukono gwo ekikopo ekitagaza:+
Ekibya, ekikopo kyange eky’obusungu;
Toliddamu kukinywa.+
23 Nja kukiteeka mu mukono gw’abo abakubonyaabonya,+
Abo abaakugamba nti, ‘Weeyale wansi tukutambulireko!’
Naawe n’ofuula omugongo gwo ng’ettaka,
N’ogufuula ng’oluguudo batambulireko.”
-
-
Yeremiya 25:28Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
28 Bwe banaagaana okuggya ekikopo mu mukono gwo okunywa, ojja kubagamba nti, ‘Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba: “Muteekwa okukinywa!
-