15 Mufuuwe eŋŋombe mu Sayuuni!
Mulangirire okusiiba; muyite olukuŋŋaana olw’enjawulo.+
16 Mukuŋŋaanye abantu; mutukuze ekibiina.+
Mukuŋŋaanye abasajja abakadde; mukuŋŋaanye abaana abato n’abo abakyayonka.+
Omugole omusajja ave mu kisenge kye eky’omunda, n’omugole omukazi naye ave mu kisenge kye.