-
Yeremiya 7:5-7Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
5 Bwe munaatereeza amakubo gammwe era ne mukyusa ebikolwa byammwe; bwe munaakola ku nsonga z’omuntu ne munne mu bwenkanya;+ 6 bwe mutaanyigirize bagwira, abaana enfuuzi,* ne bannamwandu;+ bwe mutaayiwe musaayi gw’abantu abatalina musango mu kifo kino; era bwe mutaagoberere bakatonda balala ne mwereetera obuzibu;+ 7 olwo nja kubaleka mweyongere okubeera mu kifo kino, mu nsi gye nnawa bajjajjammwe okuba eyaabwe emirembe n’emirembe.”’”
-
-
Yeremiya 25:5, 6Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
5 Babaddenga babagamba nti, ‘Buli omu ku mmwe ave mu makubo ge amabi era aleke ebikolwa bye ebibi;+ olwo ensi Yakuwa gye yabawa edda mmwe ne bajjajjammwe mujja kweyongera okugibeeramu ekiseera kiwanvu. 6 Temugoberera bakatonda balala, era temubaweereza wadde okubavunnamira. Temunnyiiza nga mwekolera ebifaananyi, nneme okubabonereza.’
-