-
2 Samwiri 5:6, 7Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
6 Awo kabaka n’abasajja be ne bagenda e Yerusaalemi okulwanyisa Abayebusi+ abaali babeerayo. Abayebusi ne basoomooza Dawudi nga bagamba nti: “Toliyingira muno, kubanga ne bamuzibe n’abalema balikugoba.” Abayebusi baali balowooza nti: ‘Dawudi taliyingira muno.’+ 7 Wadde kyali kityo, Dawudi yawamba ekigo kya Sayuuni, era ekyo kaakano kye Kibuga kya Dawudi.+
-
-
1 Bassekabaka 9:20, 21Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
20 Abantu bonna abaasigalawo ku Baamoli, n’Abakiiti, n’Abaperizi, n’Abakiivi, n’Abayebusi,+ abantu abataali Bayisirayiri,+ 21 kwe kugamba, bazzukulu baabwe abaali basigaddewo mu nsi—abo Abayisirayiri be bataayinza kuzikiriza—Sulemaani yabafuula baddu n’abakozesa emirimu egy’obuwaze, era bakyagikola n’okutuusa leero.+
-