5 Naye nnabbi oyo oba omuloosi w’ebirooto oyo attibwanga,+ kubanga anaabanga abagambye okujeemera Yakuwa Katonda wammwe eyabaggya mu nsi ya Misiri era eyabanunula mu nnyumba ey’obuddu. Omuntu oyo akuggya mu kkubo Yakuwa Katonda wo lye yakulagira okutambulirangamu; oggyangawo ekibi mu mmwe.+