-
Ezera 9:6, 7Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
6 Awo ne ŋŋamba nti: “Ai Katonda wange, mpulira obuswavu okuyimusa amaaso gange gy’oli, Ai Katonda wange, kubanga ebibi byaffe byetuumye ku mitwe gyaffe, era ebyonoono byaffe biyitiridde obungi ne bituuka ne ku ggulu.+ 7 Okuva mu biseera bya bajjajjaffe n’okutuusa leero tulina omusango munene,+ era olw’okwonoona kwaffe, twaweebwayo ffe ne bakabaka baffe ne bakabona baffe mu mikono gya bakabaka b’ensi endala, twattibwa n’ekitala,+ twatwalibwa mu buwambe,+ twanyagibwa,+ era twaswazibwa, nga bwe kiri leero.+
-
-
Koseya 14:1Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
14 “Komawo eri Yakuwa Katonda wo ggwe Isirayiri,+
Kubanga weesittadde olw’ekibi kyo.
-