-
Makko 2:3-12Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
3 Awo abasajja bana ne bajja nga basitudde omuntu eyali yasannyalala, ne bamumuleetera.+ 4 Naye olw’obutasobola kumutuusa Yesu we yali olw’abantu abangi, baasereekulula akasolya k’ennyumba Yesu mwe yali, ne bayisaamu omusajja eyali yasannyalala, ng’agalamidde ku katanda kwe baamuleetera. 5 Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe,+ n’agamba oyo eyali yasannyalala nti: “Mwana wange, osonyiyiddwa ebibi byo.”+ 6 Abamu ku bawandiisi baali awo nga batudde era nga balowooza mu mitima gyabwe nti:+ 7 “Lwaki omusajja ono ayogera bw’atyo? Avvoola. Ani ayinza okusonyiwa ebibi okuggyako Katonda yekka?”+ 8 Naye amangu ago Yesu n’akitegeera* nti baali balowooza bwe batyo, era n’abagamba nti: “Lwaki mulowooza ebintu bino mu mitima gyammwe?+ 9 Kiki ekisinga obwangu, okugamba omusajja ono eyasannyalala nti, ‘Osonyiyiddwa ebibi byo,’ oba okugamba nti ‘Yimuka ositule akatanda ko otambule’? 10 Naye mmwe okusobola okukimanya nti Omwana w’omuntu+ alina obuyinza okusonyiwa ebibi ku nsi—”+ n’agamba oyo eyali yasannyalala nti: 11 “Nkugamba nti, Yimuka ositule akatanda ko ogende ewammwe.” 12 Amangu ago n’ayimuka n’asitula akatanda ke, n’afuluma nga bonna bamulaba, ne beewuunya era ne bagulumiza Katonda nga bagamba nti: “Kino tetukirabangako.”+
-
-
Lukka 5:18-26Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
18 Awo abasajja ne baleeta omusajja eyasannyalala, nga bamusitulidde ku katanda, ne bagezaako okumuyingiza bamuteeke mu maaso ga Yesu.+ 19 Bwe baalemererwa okumuyingiza olw’ekibiina ky’abantu, ne balinnya waggulu ku kasolya ne bayisaamu omusajja ne bamussa ng’ali ku katanda wakati mu bantu abaali mu maaso ga Yesu. 20 Bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n’agamba omusajja eyali yasannyalala nti: “Osonyiyiddwa ebibi byo.”+ 21 Awo abawandiisi n’Abafalisaayo ne batandika okulowooza mu mitima gyabwe nti: “Ono y’ani ayogera ebigambo ebivvoola? Ani ayinza okusonyiwa ebibi okuggyako Katonda yekka?”+ 22 Naye Yesu bwe yategeera endowooza yaabwe n’abagamba nti: “Biki bye mulowooza mu mitima gyammwe? 23 Kiki ekisinga obwangu, okugamba nti, ‘Osonyiyiddwa ebibi byo,’ oba okugamba nti, ‘Yimuka otambule’? 24 Naye mmwe okusobola okukimanya nti Omwana w’omuntu alina obuyinza okusonyiwa ebibi ku nsi—” n’agamba eyali yasannyalala nti: “Nkugamba nti, Yimuka ositule akatanda ko ogende ewammwe.”+ 25 N’ayimuka amangu ago nga bonna balaba, n’asitula akatanda kwe yalinga agalamira, n’agenda eka ng’agulumiza Katonda. 26 Bonna ne bawuniikirira ne batandika okugulumiza Katonda, ne batya, era ne bagamba nti: “Olwa leero tulabye ebintu ebyewuunyisa!”
-