-
Makko 5:22-24Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
22 Awo omu ku bakulu b’ekkuŋŋaaniro ayitibwa Yayiro n’ajja, era bwe yamulaba n’avunnama mu maaso ge.+ 23 N’amwegayirira nnyo ng’agamba nti: “Muwala wange mulwadde nnyo.* Nkwegayiridde, jjangu omuteekeko emikono+ awone aleme okufa.” 24 Awo Yesu n’agenda naye, era abantu bangi nnyo ne bamugoberera nga bagenda bamunyigiriza.
-
-
Lukka 8:41, 42Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
41 Naye omusajja ayitibwa Yayiro eyali omukulu w’ekkuŋŋaaniro n’ajja n’avunnama mu maaso ga Yesu n’amwegayirira agende mu nnyumba ye,+ 42 kubanga muwala we omu yekka eyalina emyaka nga 12, yali ali kumpi kufa.
Awo Yesu bwe yali agenda, ekibiina ky’abantu ne kimwekumako.
-