-
Okubala 27:16, 17Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
16 “Yakuwa Katonda awa abantu bonna obulamu alondere ekibiina omusajja 17 anaabakulemberanga mu bye bakola, era anaabafulumyanga ate n’abayingiza, ekibiina kya Yakuwa kireme kuba ng’endiga ezitalina musumba.”
-
-
1 Bassekabaka 22:17Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
17 Awo n’agamba nti: “Ndaba Abayisirayiri bonna nga basaasaanye ku nsozi+ nga balinga endiga ezitalina musumba; era Yakuwa agambye nti: ‘Bano tebalina mukama waabwe. Ka buli omu addeyo mu nnyumba ye mirembe.’”
-
-
Ezeekyeri 34:5Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
5 Zaasaasaana olw’obutaba na musumba;+ zaasaasaana ne zifuuka kya kulya eri buli nsolo ey’omu nsiko.
-