-
Makko 12:13-17Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
13 Ne bamutumira abamu ku Bafalisaayo n’abagoberezi ba Kerode, bamukwase mu by’ayogera.+ 14 Bwe baatuuka w’ali, ne bamugamba nti: “Omuyigiriza, tumanyi nti oli wa mazima era totwalirizibwa ndowooza ya muntu yenna, kubanga totunuulira ndabika ya kungulu, wabula oyigiriza ekkubo lya Katonda mu mazima. Kiba kituufu okusasula Kayisaali omusolo oba nedda? 15 Tusasule, oba tetusasula?” Bwe yategeera obunnanfuusi bwabwe, n’abagamba nti: “Lwaki munkema? Mundeetere eddinaali.”* 16 Ne bagimuleetera. N’ababuuza nti: “Ekifaananyi n’ebigambo ebigiriko by’ani?” Ne bamugamba nti: “Bya Kayisaali.” 17 Yesu n’abagamba nti: “Ebya Kayisaali mubiwe Kayisaali,+ naye ebya Katonda mubiwe Katonda.”+ Ne beewuunya olw’ebyo bye yayogera.
-
-
Lukka 20:20-26Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
20 Ne banoonya we banaamukwasiza; ne basasula abasajja beefuule ng’abantu abatuukirivu okusobola okumukwasa mu by’ayogera,+ balyoke bamuweeyo eri ab’obuyinza n’eri* gavana. 21 Awo ne bamubuuza nti: “Omuyigiriza, tumanyi nti by’oyogera ne by’oyigiriza bya mazima era tososola, naye oyigiriza ekkubo lya Katonda mu ngeri etuukana n’amazima: 22 Kiba kituufu okusasula Kayisaali omusolo oba nedda?” 23 Naye n’ategeera obukuusa bwabwe, n’abagamba nti: 24 “Mundage eddinaali.* Ekifaananyi n’ebigambo ebigiriko by’ani?” Ne bamugamba nti: “Bya Kayisaali.” 25 N’abagamba nti: “Kale, ebya Kayisaali mubiwe Kayisaali,+ naye ebya Katonda mubiwe Katonda.”+ 26 Ne batasobola kumukwasa mu bigambo ebyo mu maaso g’abantu, naye ne beewuunya nnyo kye yabaddamu, era ne basirika.
-