-
Matayo 9:3-8Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
3 Abamu ku bawandiisi ne bagambagana nti: “Omuntu ono avvoola.” 4 Yesu bwe yamanya kye balowooza n’abagamba nti: “Lwaki mulowooza ebintu ebibi mu mitima gyammwe?+ 5 Kiki ekisinga obwangu, okugamba nti, ‘Osonyiyiddwa ebibi byo,’ oba okugamba nti, ‘Yimuka otambule’?+ 6 Naye mmwe okusobola okukimanya nti Omwana w’omuntu alina obuyinza okusonyiwa ebibi ku nsi—” awo n’agamba oyo eyali yasannyalala nti: “Yimuka ositule akatanda ko ogende ewammwe.”+ 7 N’ayimuka n’agenda eka. 8 Abantu bwe baalaba ekyo ne batya, ne bagulumiza Katonda eyawa abantu obuyinza obwenkanidde awo.
-
-
Lukka 5:21-26Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
21 Awo abawandiisi n’Abafalisaayo ne batandika okulowooza mu mitima gyabwe nti: “Ono y’ani ayogera ebigambo ebivvoola? Ani ayinza okusonyiwa ebibi okuggyako Katonda yekka?”+ 22 Naye Yesu bwe yategeera endowooza yaabwe n’abagamba nti: “Biki bye mulowooza mu mitima gyammwe? 23 Kiki ekisinga obwangu, okugamba nti, ‘Osonyiyiddwa ebibi byo,’ oba okugamba nti, ‘Yimuka otambule’? 24 Naye mmwe okusobola okukimanya nti Omwana w’omuntu alina obuyinza okusonyiwa ebibi ku nsi—” n’agamba eyali yasannyalala nti: “Nkugamba nti, Yimuka ositule akatanda ko ogende ewammwe.”+ 25 N’ayimuka amangu ago nga bonna balaba, n’asitula akatanda kwe yalinga agalamira, n’agenda eka ng’agulumiza Katonda. 26 Bonna ne bawuniikirira ne batandika okugulumiza Katonda, ne batya, era ne bagamba nti: “Olwa leero tulabye ebintu ebyewuunyisa!”
-