-
Matayo 11:7-11Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
7 Abo bwe baagenda, Yesu n’atandika okubuulira ekibiina ky’abantu ebikwata ku Yokaana, ng’agamba nti: “Mwagenda kulaba ki mu ddungu?+ Olumuli oluyuuyizibwa empewo?+ 8 Kati olwo mwagenda kulaba ki? Omusajja ayambadde engoye ennungi? Abo abambala engoye ennungi babeera mu nnyumba za bakabaka. 9 Ddala lwaki mwagenda mu ddungu? Mwagenda kulaba nnabbi? Mazima mbagamba nti oyo gwe mwagenda okulaba mukulu nnyo okusinga nnabbi.+ 10 Oyo ebyawandiikibwa gwe byogerako nti: ‘Laba! Ntuma omubaka wange akukulemberemu;* oyo ajja kukuteekerateekera ekkubo!’+ 11 Mazima mbagamba nti, mu abo abaazaalibwa abakazi, tewabangawo muntu asinga Yokaana Omubatiza; naye oyo asembayo okuba owa wansi mu Bwakabaka obw’omu ggulu amusinga.+
-