-
Matayo 9:20-22Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
20 Awo omukazi eyali alwadde ekikulukuto ky’omusaayi+ okumala emyaka 12 n’ava emabega n’akwata ku lukugiro lw’ekyambalo kya Yesu eky’okungulu,+ 21 kubanga yali agamba mu mutima gwe nti: “Ne bwe nnaakwata obukwasi ku kyambalo kye eky’okungulu nja kuwona.” 22 Yesu n’akyuka, n’amulaba, n’amugamba nti: “Muwala, totya; okukkiriza kwo kukuwonyezza.”+ Era okuva mu kiseera ekyo omukazi n’awona.+
-
-
Makko 5:25-29Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
25 Waaliwo omukazi eyali alwadde ekikulukuto ky’omusaayi+ okumala emyaka 12.+ 26 Yali abonyeebonye nnyo olw’obujjanjabi abasawo bangi bwe baamuwanga, era ng’asaasaanyizza ssente ze zonna, naye n’atafunawo njawulo, wabula nga yeeyongera kuba bubi. 27 Bwe yawulira ebikwata ku Yesu, n’ajjira mu kibiina ky’abantu abaali bamugoberera, n’akwata ku kyambalo kye eky’okungulu,+ 28 kubanga yali agamba nti: “Ne bwe nnaakwata obukwasi ku kyambalo kye eky’okungulu nja kuwona.”+ 29 Amangu ago n’alekera awo okukulukuta omusaayi, era n’awulira mu mubiri gwe nti yali awonyezeddwa obulwadde obwo obwali bumubonyaabonya.
-