-
Matayo 19:16-22Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
16 Awo ne wabaawo omuntu eyajja gy’ali n’amugamba nti: “Omuyigiriza, kirungi ki kye nteekwa okukola nsobole okufuna obulamu obutaggwaawo?”+ 17 N’amugamba nti: “Lwaki ombuuza ekirungi? Omulungi ali omu.+ Naye bw’oba oyagala okufuna obulamu, kwatanga ebiragiro.”+ 18 N’amugamba nti: “Bye biruwa?” Yesu n’amuddamu nti: “Tottanga,+ toyendanga,+ tobbanga,+ towaayirizanga,+ 19 kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa,+ era olina okwagala muliraanwa* wo nga bwe weeyagala.”+ 20 Omusajja n’amugamba nti: “Bino byonna mbadde mbikwata; kiki ekirala kye mbulako?” 21 Yesu n’amugamba nti: “Bw’oba oyagala okuba eyatuukirira, genda otunde ebintu byo ogabire abaavu, oliba n’obugagga mu ggulu;+ bw’omala okukola ekyo, ojje ongoberere.”+ 22 Omusajja bwe yawulira ebyo n’agenda ng’anakuwadde kubanga yalina ebintu bingi.+
-
-
Makko 10:17-22Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
17 Bwe yali mu kkubo ng’atambula, omusajja omu n’ajja ng’adduka n’afukamira mu maaso ge n’amubuuza nti: “Omuyigiriza Omulungi, kiki kye nteekwa okukola okusobola okusikira obulamu obutaggwaawo?”+ 18 Yesu n’amugamba nti: “Lwaki ompita omulungi? Teri mulungi, okuggyako Katonda.+ 19 Amateeka ogamanyi: ‘Tottanga,+ toyendanga,+ tobbanga,+ towaayirizanga,+ tokumpanyanga,+ kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’”+ 20 Omusajja n’amugamba nti: “Omuyigiriza, bino byonna mbadde mbikwata okuva mu buto.” 21 Yesu n’amutunuulira era n’awulira ng’amwagadde, n’amugamba nti, “Ekintu kimu kyokka ky’obuzaayo okukola: Genda otunde ebintu by’olina ogabire abaavu, oliba n’obugagga mu ggulu; bw’omala okukola ekyo, ojje ongoberere.”+ 22 Naye ebigambo ebyo byamunakuwaza, n’agenda ng’anakuwadde kubanga yalina ebintu bingi.+
-
-
Lukka 10:25-28Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
25 Awo omusajja omu eyali omukenkufu mu Mateeka n’ayimuka okumugezesa, n’amugamba nti: “Omuyigiriza, nkole ki okusobola okusikira obulamu obutaggwaawo?”+ 26 N’amugamba nti: “Amateeka gagamba ki? Osoma otya?” 27 N’amuddamu nti: “‘Oyagalanga Yakuwa* Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amaanyi go gonna, n’amagezi go gonna,’+ era ‘oyagalanga muliraanwa* wo nga bwe weeyagala.’”+ 28 N’amugamba nti: “Ozzeemu bulungi; kolanga bw’otyo era olifuna obulamu.”+
-