-
2 Bassekabaka 17:13, 14Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
13 Yakuwa yalabulanga Isirayiri ne Yuda ng’ayitira mu bannabbi be bonna ne mu abo bonna abaategeezanga abantu okwolesebwa okwavanga gy’ali,+ ng’agamba nti: “Muleke amakubo gammwe amabi!+ Mukwate amateeka gange n’ebiragiro byange byonna ebiwandiikiddwa mu mateeka ge nnawa bajjajjammwe era ge nnabawa nga mpitira mu baweereza bange bannabbi.” 14 Naye tebaawuliriza, era baasigala bakakanyavu nga* bajjajjaabwe abataalaga kukkiriza mu Yakuwa Katonda waabwe.+
-
-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 36:15, 16Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
15 Yakuwa Katonda wa bajjajjaabwe yabalabulanga ng’ayitira mu babaka be, yabalabula enfunda n’enfunda, kubanga yali asaasira abantu be n’ekifo kye ky’abeeramu. 16 Naye baajereganga ababaka ba Katonda ow’amazima+ ne banyooma ebigambo bye+ era ne basekerera ne bannabbi be,+ okutuusa obusungu bwa Yakuwa lwe bwabuubuukira abantu be,+ okutuusa lwe kyali nti waali tewakyali ssuubi lyonna lya kubawonya.
-
-
Abebbulaniya 11:36, 37Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
36 Abalala baagezesebwa nga basekererwa, nga bakubibwa, n’ekisinga ebyo, nga basibibwa enjegere,+ era nga bateekebwa mu kkomera.+ 37 Baakubibwa amayinja,+ baagezesebwa, baasalibwamu n’emisumeeno, battibwa n’ekitala,+ baatambulanga nga bambadde amaliba g’endiga, ag’embuzi,+ nga bali mu bwetaavu, nga babonaabona,+ era nga bayisibwa bubi;+
-