-
Matayo 22:15-22Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
15 Awo Abafalisaayo ne bagenda ne bateesa engeri gye banaamukwasaamu mu by’ayogera.+ 16 Ne bamusindikira abayigirizwa baabwe nga bali wamu n’abagoberezi ba Kerode,+ ne bamugamba nti: “Omuyigiriza, tumanyi nti oli wa mazima era nti oyigiriza ekkubo lya Katonda mu mazima, era nti totwalirizibwa ndowooza ya muntu yenna kubanga totunuulira ndabika ya kungulu. 17 Kale tubuulire, olowooza otya? Kiba kituufu okusasula Kayisaali omusolo oba nedda?” 18 Naye Yesu bwe yategeera olukwe lwabwe, n’abagamba nti: “Lwaki munkema mmwe bannanfuusi? 19 Mundage essente y’omusolo.” Ne bamuleetera eddinaali.* 20 N’ababuuza nti: “Ekifaananyi n’ebigambo ebigiriko by’ani?” 21 Ne bamugamba nti: “Bya Kayisaali.” N’abagamba nti: “Ebya Kayisaali mubiwe Kayisaali, naye ebya Katonda mubiwe Katonda.”+ 22 Bwe baawulira ekyo ne beewuunya nnyo, ne bamuviira ne bagenda.
-
-
Makko 12:13-17Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
13 Ne bamutumira abamu ku Bafalisaayo n’abagoberezi ba Kerode, bamukwase mu by’ayogera.+ 14 Bwe baatuuka w’ali, ne bamugamba nti: “Omuyigiriza, tumanyi nti oli wa mazima era totwalirizibwa ndowooza ya muntu yenna, kubanga totunuulira ndabika ya kungulu, wabula oyigiriza ekkubo lya Katonda mu mazima. Kiba kituufu okusasula Kayisaali omusolo oba nedda? 15 Tusasule, oba tetusasula?” Bwe yategeera obunnanfuusi bwabwe, n’abagamba nti: “Lwaki munkema? Mundeetere eddinaali.”* 16 Ne bagimuleetera. N’ababuuza nti: “Ekifaananyi n’ebigambo ebigiriko by’ani?” Ne bamugamba nti: “Bya Kayisaali.” 17 Yesu n’abagamba nti: “Ebya Kayisaali mubiwe Kayisaali,+ naye ebya Katonda mubiwe Katonda.”+ Ne beewuunya olw’ebyo bye yayogera.
-