-
Matayo 22:23-28Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
23 Ku lunaku olwo, Abasaddukaayo abagamba nti teri kuzuukira,+ bajja ne bamubuuza nti:+ 24 “Omuyigiriza, Musa yagamba nti: ‘Singa omuntu afa nga tazadde baana, muganda we ateekwa okuwasa mukyala we amuzaalire abaana.’+ 25 Ewaffe waaliyo ab’oluganda musanvu. Ow’olubereberye yawasa naye n’afa nga talina mwana era muganda we n’awasa mukyala we. 26 Bwe kityo bwe kyali ku w’okubiri, era ne ku w’okusatu, okutuukira ddala ku w’omusanvu. 27 Oluvannyuma omukazi naye yafa. 28 Kati olwo mu kiseera eky’okuzuukira, aliba mukyala w’ani ku abo omusanvu? Kubanga bonna baamuwasa.”
-
-
Makko 12:18-23Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
18 Awo Abasaddukaayo abagamba nti teri kuzuukira,+ ne bajja ne bamubuuza nti:+ 19 “Omuyigiriza, Musa yatugamba nti omusajja bw’afa n’aleka mukyala we, naye nga tazadde mwana, muganda we asaanidde okutwala omukyala oyo, azaalire muganda we abaana.+ 20 Waaliwo ab’oluganda musanvu. Ow’olubereberye yawasa, naye n’afa nga tazadde mwana. 21 Ow’okubiri n’atwala mukyala we, era naye n’afa nga tazadde mwana; n’ow’okusatu bw’atyo. 22 Bonna omusanvu tebaaleka baana. Oluvannyuma omukazi naye yafa. 23 Mu kuzuukira, aliba mukyala w’ani? Kubanga bonna omusanvu baamuwasa.”
-