-
Matayo 27:22-26Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
22 Piraato n’abagamba nti: “Kati olwo Yesu ayitibwa Kristo mmukole ki?” Bonna ne bagamba nti: “Mukomerere* ku muti!”+ 23 N’ababuuza nti: “Lwaki, kibi ki kye yakola?” Naye ne beeyongera okuleekaana nti: “Mukomerere ku muti!”+
24 Piraato bwe yalaba ng’okufuba kwe tekuvuddemu kalungi konna wabula nga beeyongera bweyongezi kuleekaana, n’akwata amazzi n’anaaba mu ngalo mu maaso g’abantu bonna, nga bw’agamba nti: “Sivunaanibwa musaayi gwa muntu ono. Omusango gwammwe.” 25 Awo abantu bonna ne baddamu nti: “Omusaayi gwe gubeere ku ffe ne ku baana baffe.”+ 26 N’abateera Balabba, naye n’alagira Yesu akubibwe+ era n’amuwaayo akomererwe ku muti.+
-
-
Makko 15:12-15Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
12 Piraato n’addamu n’amubuuza nti: “Kati olwo oyo gwe muyita Kabaka w’Abayudaaya mmukole ki?”+ 13 Ne boogerera waggulu nate nti: “Mukomerere* ku muti!”+ 14 Naye Piraato n’ababuuza nti: “Lwaki, kibi ki kye yakola?” Kyokka ne beeyongera okwogerera waggulu nti: “Mukomerere* ku muti!”+ 15 Awo Piraato olw’okwagala okusanyusa abantu, n’abateera Balabba; era oluvannyuma lw’okulagira Yesu akubibwe kibooko,+ n’amuwaayo akomererwe ku muti.+
-