22 “Omuntu bw’anaakolanga ekibi ekimugwanyiza okuttibwa, n’attibwa,+ era n’omuwanika ku muti,+ 23 omulambo gwe tegusigalanga ku muti ekiro kyonna,+ wabula omuziikanga ku lunaku olwo, kubanga oyo awanikibwa aba akolimiddwa Katonda;+ era toyonoonanga nsi yo Yakuwa Katonda wo gy’akuwa okuba obusika.+