37 Awo Piraato n’amubuuza nti: “Kati olwo oli kabaka?” Yesu n’amuddamu nti: “Ggwe kennyini ggwe ogamba nti ndi kabaka.+ Kino kye nnazaalirwa era kino kye kyandeeta mu nsi: okuwa obujulirwa ku mazima.+ Buli ali ku ludda lw’amazima awulira eddoboozi lyange.”