-
Okuva 3:2-10Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
2 Malayika wa Yakuwa n’amulabikira mu nnimi z’omuliro ogwali gwakira wakati mu kisaka.+ Musa n’atunuulira ekisaka, n’alaba nga kyaka omuliro naye nga tekiggya. 3 Awo Musa n’agamba nti: “Ka ŋŋende nneetegereze ekintu kino ekitali kya bulijjo, ndabe ensonga lwaki ekisaka tekiggya.” 4 Yakuwa bwe yalaba nga Musa asembedde okukyetegereza, n’amuyita ng’ayima mu kisaka, n’agamba nti: “Musa! Musa!” Musa n’ayitaba nti: “Nzuuno.” 5 Awo Katonda n’amugamba nti: “Koma awo. Ggyamu engatto zo, kubanga ekifo ky’oyimiriddemu kitukuvu.”
6 Era n’amugamba nti: “Nze Katonda wa kitaawo, Katonda wa Ibulayimu,+ Katonda wa Isaaka,+ era Katonda wa Yakobo.”+ Musa ne yeebikka mu maaso kubanga yatya okutunuulira Katonda ow’amazima. 7 Yakuwa n’amugamba nti: “Mazima ddala ndabye okubonaabona kw’abantu bange abali e Misiri era mpulidde okukaaba kwabwe olw’abo ababawaliriza okukola; era mmanyi bulungi obulumi bwe balimu.+ 8 Ŋŋenda kukka mbanunule mu mukono gw’Abamisiri,+ mbaggye mu nsi eyo mbatwale mu nsi ennungi era engazi, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki,+ omubeera Abakanani, n’Abakiiti, n’Abaamoli, n’Abaperizi, n’Abakiivi, n’Abayebusi.+ 9 Era laba! Okukaaba kw’abantu ba Isirayiri kutuuse gye ndi era ndabye engeri Abamisiri gye bababonyaabonyaamu.+ 10 Kale kaakano jjangu nkutume eri Falaawo oggyeyo abantu bange Abayisirayiri e Misiri.”+
-