28 Kubanga Omuyudaaya ddala si ye w’okungulu,+ era n’okukomolebwa kwennyini si kwekwo okw’okungulu, okw’oku mubiri.+ 29 Naye Omuyudaaya ddala ye w’omunda,+ n’okukomolebwa kwe kwa mu mutima+ okuyitira mu mwoyo so si mu Mateeka agali mu buwandiike.+ Oyo Katonda y’amutendereza so si bantu.+