Engero 11:24 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 24 Omuntu omugabi* afuna bingi;+Naye omukodo ayavuwala.+ Engero 19:17 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 17 Alaga omunaku ekisa aba awola Yakuwa,+Era ajja kumusasula* olw’ekyo ky’akola.+ Engero 22:9 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 9 Omuntu omugabi* ajja kuweebwa emikisa,Kubanga abaavu abawa ku mmere ye.+ Omubuulizi 11:1 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 11 Suula omugaati gwo ku mazzi,+ kubanga oliddamu n’ogulaba nga wayiseewo ennaku nnyingi.+ Lukka 6:38 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 38 Mugabenga, nammwe abantu balibagabira.+ Balibayiira mu bikondoolo byammwe ekigera ekirungi, ekikkatiddwa, ekisuukundiddwa, era ekijjudde ne kibooga. Kubanga ekipimo kye mukozesa okupimira abalala, nabo kye balikozesa okubapimira.”
38 Mugabenga, nammwe abantu balibagabira.+ Balibayiira mu bikondoolo byammwe ekigera ekirungi, ekikkatiddwa, ekisuukundiddwa, era ekijjudde ne kibooga. Kubanga ekipimo kye mukozesa okupimira abalala, nabo kye balikozesa okubapimira.”