Abafiripi 2:3 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 3 Temukola kintu kyonna mu kuyomba,+ oba mu kwetwala ng’ab’ekitalo,+ wabula mu bwetoowaze mukitwale+ nti abalala babasinga, 1 Peetero 5:5 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 5 Nammwe abavubuka, mugonderenga abasajja abakadde.+ Naye mmwenna mwambale* obwetoowaze nga mukolagana n’abalala, kubanga Katonda alwanyisa ab’amalala naye abeetoowaze abalaga ekisa eky’ensusso.+
3 Temukola kintu kyonna mu kuyomba,+ oba mu kwetwala ng’ab’ekitalo,+ wabula mu bwetoowaze mukitwale+ nti abalala babasinga,
5 Nammwe abavubuka, mugonderenga abasajja abakadde.+ Naye mmwenna mwambale* obwetoowaze nga mukolagana n’abalala, kubanga Katonda alwanyisa ab’amalala naye abeetoowaze abalaga ekisa eky’ensusso.+