-
Abeefeso 3:8, 9Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
8 Nze omuntu asembayo okuba owa wansi mu batukuvu bonna,+ nnaweebwa ekisa kino eky’ensusso,+ nsobole okubuulira ab’amawanga amawulire amalungi agakwata ku bugagga bwa Kristo obutanoonyezeka, 9 era nsobozese abantu okulaba engeri ekyama kino ekitukuvu+ gye kituukirizibwamu, Katonda eyatonda ebintu byonna ky’abadde akisizza okuva edda n’edda.
-