8 Ensolo gy’olabye yaliwo naye teriiwo, naye enaatera okuva mu bunnya+ era egenda kuzikirizibwa. Era abantu ababeera ku nsi—abo abataawandiikibwa mannya gaabwe mu muzingo ogw’obulamu+ okuva ku ntandikwa y’ensi—balyewuunya, bwe baliraba ng’ensolo yaliwo, n’etebaawo, ate n’eddamu n’ebaawo.