Lukka
8 Oluvannyuma lw’akaseera katono, yagenda mu buli kibuga ne mu buli kabuga ng’abuulira era ng’alangirira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda.+ Ekkumi n’Ababiri baali naye, 2 awamu n’abakazi abamu abaali bagobeddwako emyoyo emibi era nga bawonyezeddwa endwadde: Maliyamu eyali ayitibwa Magudaleena, eyagobwako dayimooni omusanvu; 3 Yowaana+ mukyala wa Kuza eyali alabirira ennyumba ya Kerode; Susaana; n’abakazi abalala bangi abaali babaweereza nga bakozesa ebintu byabwe.+
4 Awo ekibiina ky’abantu bwe kyali nga kikuŋŋaanye wamu n’abo abaatambulanga naye mu buli kibuga, n’ayogera nabo mu lugero nti:+ 5 “Omusizi yagenda okusiga ensigo ze. Bwe yali asiga, ezimu ku zo ne zigwa ku mabbali g’ekkubo, ne zirinnyirirwa era ebinyonyi ne bizirya.+ 6 Endala ne zigwa ku lwazi, era oluvannyuma lw’okumera ne zikala kubanga tezaalina mazzi.+ 7 Endala ne zigwa mu maggwa, amaggwa ne gakulira wamu nazo ne gazitta.+ 8 Ate endala ne zigwa ku ttaka eddungi era bwe zaamala okukula ne zibala ebibala ebikubisaamu emirundi 100.”+ Bwe yamala okwogera ebintu ebyo, n’agamba nti: “Oyo alina amatu ag’okuwulira, awulire.”+
9 Naye abayigirizwa be ne bamubuuza olugero olwo kye lutegeeza.+ 10 N’abaddamu nti: “Mmwe muweereddwa okutegeera ebyama ebitukuvu eby’Obwakabaka bwa Katonda, naye eri abalala bisigala mu ngero,+ baleme okulaba wadde batunula era baleme okutegeera amakulu gaabyo wadde bawulira.+ 11 Amakulu g’olugero ge gano: Ensigo kye kigambo kya Katonda.+ 12 Ezo ezaagwa ku mabbali g’ekkubo, beebo ababa bawulidde ekigambo naye Omulyolyomi n’ajja n’akiggya mu mitima gyabwe baleme okukkiriza balokolebwe.+ 13 Ezo ezaagwa ku lwazi, beebo abawulira ekigambo ne bakikkiriza n’essanyu, naye nga tebalina mirandira. Bakkiriza okumala akaseera naye mu kiseera eky’okugezesebwa bagwa.+ 14 Ezo ezaagwa mu maggwa, beebo ababa bawulidde ekigambo, naye okweraliikirira, eby’obugagga,+ n’amasanyu ag’omu bulamu buno,+ bibawugula ne bazika era ne batabaako kibala kirungi kye babala.+ 15 Ate ezo ezaagwa ku ttaka eddungi, beebo, oluvannyuma lw’okuwulira ekigambo n’omutima omulungi ennyo ddala,+ abakinywererako era ne babala ebibala n’obugumiikiriza.+
16 “Tewali muntu amala okukoleeza ettaala ate n’agibikkako ekibbo oba n’agiteeka wansi w’ekitanda; wabula agiteeka ku kikondo kyayo abayingira basobole okulaba ekitangaala.+ 17 Kubanga tewali kintu kyonna kikwekeddwa ekitalikwekulwa, wadde ekikisiddwa ekitalimanyibwa ne kirabika mu lwatu.+ 18 N’olwekyo, musseeyo omwoyo ku ngeri gye muwulirizaamu; kubanga buli alina alyongerwako,+ naye oyo atalina n’ekyo ky’alowooza nti akirina kirimuggibwako.”+
19 Awo maama we ne baganda be+ ne bajja okumulaba, naye ne batasobola kumutuukako olw’abantu abangi.+ 20 Ne bamugamba nti: “Maama wo ne baganda bo bayimiridde wabweru, baagala okukulaba.” 21 N’abaddamu nti: “Maama wange ne baganda bange be bano abawulira ekigambo kya Katonda ne bakikolerako.”+
22 Lumu Yesu n’abayigirizwa be baalinnya eryato, era n’abagamba nti: “Tusomoke tugende emitala w’ennyanja.” Era bwe batyo ne bagenda.+ 23 Naye bwe baali mu lyato nga bagenda, ne yeebaka. Omuyaga ogw’amaanyi ne gukunta ku nnyanja, eryato lyabwe ne litandika okujjula amazzi era ne baba nga bali mu kabi.+ 24 Ne bagenda ne bamuzuukusa nga bagamba nti: “Omuyigiriza, Omuyigiriza, tunaatera okusaanawo!” Awo n’ayimuka n’aboggolera omuyaga n’ennyanja eyali esiikuuse, omuyaga ne gukkakkana, ennyanja n’eteeka.+ 25 N’abagamba nti: “Okukkiriza kwammwe kuluwa?” Naye ne batya era ne beewuunya ne bagambagana nti: “Ono ddala y’ani, alagira omuyaga n’ennyanja ne bimuwulira?”+
26 Awo ne batuuka ku lubalama lw’ennyanja mu kitundu ky’Abagerasene,+ emitala wa Ggaliraaya. 27 Yesu bwe yatuuka ku lukalu, omusajja eyava mu kibuga ng’aliko dayimooni, n’ajja gy’ali. Yali amaze ekiseera nga tayambala, era nga tabeera mu nnyumba wabula ng’abeera mu kifo awaali entaana.*+ 28 Bwe yalaba Yesu, n’aleekaana n’agwa wansi mu maaso ge, n’ayogerera waggulu nti: “Onnanga ki ggwe Yesu Omwana wa Katonda Asingayo Okuba Waggulu? Nkwegayiridde tombonyaabonya.”+ 29 (Kubanga Yesu yali alagidde omwoyo omubi okuva ku musajja oyo. Gwali gumulinnyeeko enfunda n’enfunda,+ emirundi mingi yasibibwanga enjegere n’empingu naye ng’abikutula era nga dayimooni emutwala mu bifo awatali bantu.) 30 Yesu n’amubuuza nti: “Erinnya lyo ggwe ani?” N’amuddamu nti: “Nze Liigyoni,”* kubanga yaliko dayimooni nnyingi. 31 Awo ne zimwegayirira nnyo aleme kuziragira kugenda mu bunnya.+ 32 Ku lusozi waaliwo eggana ly’embizzi ddene+ nga lirya; dayimooni ne zimwegayirira azikkirize ziyingire mu mbizzi ezo, era n’azikkiriza.+ 33 Dayimooni ne ziva mu musajja oyo ne ziyingira mu mbizzi, era eggana lyonna ne lifubutuka ne ligenda ku kagulungujjo k’olusozi ne liwanukayo ne ligwa mu nnyanja ne lisaanawo. 34 Abo abaali bazirunda bwe baalaba ekibaddewo, ne badduka ne bagenda ne bategeeza ab’omu kibuga n’ab’omu kyalo.
35 Abantu ne bajja okulaba ekyali kibaddewo. Bwe baatuuka awaali Yesu ne basanga ng’omusajja eyali agobeddwako dayimooni ayambadde engoye, ng’ategeera bulungi era ng’atudde kumpi n’ebigere bya Yesu; ne batya nnyo. 36 Abo abaali balabye ekyali kibaddewo ne babategeeza engeri omusajja eyaliko dayimooni gye yali awonyezeddwamu. 37 Awo abantu bangi ab’omu kitundu ky’Abagerasene ne bamusaba abaviire, kubanga baali batidde nnyo. Awo n’alinnya eryato agende. 38 Naye omusajja eyali agobeddwako dayimooni n’amwegayirira agende naye; naye Yesu n’amugamba nti:+ 39 “Ddayo ewammwe, obuulire abalala ekyo Katonda ky’akukoledde.” Awo n’agenda n’alangirira mu kibuga kyonna ekyo Yesu kye yali amukoledde.
40 Yesu bwe yakomawo e Ggaliraaya, ekibiina ky’abantu ne kimwaniriza n’essanyu, kubanga bonna baali bamulindiridde.+ 41 Naye omusajja ayitibwa Yayiro eyali omukulu w’ekkuŋŋaaniro n’ajja n’avunnama mu maaso ga Yesu n’amwegayirira agende mu nnyumba ye,+ 42 kubanga muwala we omu yekka eyalina emyaka nga 12, yali ali kumpi kufa.
Awo Yesu bwe yali agenda, ekibiina ky’abantu ne kimwekumako. 43 Waaliwo omukazi eyali alwadde ekikulukuto ky’omusaayi+ okumala emyaka 12, era nga tewali muntu yenna eyali asobodde okumuwonya.+ 44 Yasemberera Yesu ng’amuvaako emabega n’akwata ku lukugiro lw’ekyambalo kye eky’okungulu,+ era amangu ago n’awona ekikulukuto ky’omusaayi. 45 Awo Yesu n’agamba nti: “Ani ankutteko?” Bonna bwe beegaana, Peetero n’amugamba nti: “Omuyigiriza, abantu bangi bakwekukuutirizaako era bakunyigiriza.”+ 46 Naye Yesu n’agamba nti: “Waliwo ankutteko, kubanga nkitegedde nti amaanyi+ ganvuddemu.” 47 Omukazi bwe yalaba nga bamutegedde, n’ajja ng’akankana n’afukamira mu maaso ga Yesu, n’ayogera mu maaso g’abantu bonna ensonga lwaki yali amukutteko era n’engeri gye yali awonyeemu amangu ddala. 48 Naye Yesu n’amugamba nti: “Muwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza; genda mirembe.”+
49 Bwe yali akyayogera, omusajja eyava mu maka g’omukulu w’ekkuŋŋaaniro n’ajja n’agamba nti: “Muwala wo afudde, totawaanya muyigiriza.”+ 50 Yesu bwe yawulira ekyo n’amugamba nti: “Totya, ba n’okukkiriza, muwala wo ajja kuba mulamu.”*+ 51 Bwe yatuuka ku nnyumba teyakkiriza muntu yenna kuyingira naye okuggyako Peetero, Yokaana, Yakobo, ne kitaawe w’omuwala ne nnyina. 52 Naye abantu bonna baali bakaaba era nga baaziirana. N’abagamba nti: “Mulekere awo okukaaba,+ kubanga tafudde, wabula yeebase.”+ 53 Awo ne batandika okumusekerera, kubanga baali bamanyi nti yali afudde. 54 Naye n’amukwata ku mukono, n’agamba nti: “Omuwala, situka!”+ 55 Awo omwoyo gwe*+ ne gumuddamu, era amangu ago n’asituka.+ Yesu n’alagira bamuwe eky’okulya. 56 Bazadde be ne basanyuka nnyo, naye n’abalagira obutabaako muntu yenna gwe babuulira ekyo ekyali kibaddewo.+