Lukka
9 Awo n’ayita abayigirizwa be Ekkumi n’Ababiri ne bajja w’ali, n’abawa amaanyi n’obuyinza okugoba dayimooni+ n’okuwonya endwadde.+ 2 N’abatuma okubuulira Obwakabaka bwa Katonda era n’okuwonya, 3 n’abagamba nti: “Ku lugendo luno temutwala kintu kyonna, ka gube muggo, oba nsawo omuba eby’okulya, oba migaati, oba ssente eza ffeeza; era temutwala byambalo eby’omunda bibiri.+ 4 Naye buli we mutuuka omuntu n’abaaniriza, mubeerenga mu maka ge okutuusa lwe mulivaayo.+ 5 Abantu bwe batabasembezanga, bwe mubanga muva mu kibuga ekyo, mwekunkumulangako enfuufu ku bigere byammwe okuba obujulirwa gye bali.”+ 6 Awo ne bagenda mu kitundu kyonna mu buli kabuga nga babuulira amawulire amalungi era nga bawonya abantu buli wamu.+
7 Kerode ow’essaza bwe yawulira ebintu byonna ebyaliwo, n’asoberwa nnyo kubanga abamu baali bagamba nti Yokaana yali azuukiziddwa mu bafu,+ 8 naye abalala nga bagamba nti Eriya yali alabise, ate abalala nti omu ku bannabbi ab’edda yali azuukidde.+ 9 Kerode n’agamba nti: “Yokaana nnamutemako omutwe.+ Kati ani ono gwe mpulirako ebintu nga bino?” Bw’atyo n’ayagala okumulaba.+
10 Abatume bwe baakomawo, ne babuulira Yesu ebintu bye baali bakoze.+ Awo n’abatwala mu kibuga ekiyitibwa Besusayida, basobole okubeerako bokka.+ 11 Naye abantu bangi bwe baakitegeera ne bamugoberera. Yabaaniriza n’essanyu, n’atandika okubabuulira ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda, era n’awonya abo abaali beetaaga okuwonyezebwa.+ 12 Awo obudde bwe bwatandika okuwungeera, abayigirizwa Ekkumi n’Ababiri ne bajja ne bamugamba nti: “Siibula abantu bagende mu bubuga ne mu byalo ebiriraanye wano bafune eby’okulya ne we banaasula, kubanga ekifo kye tulimu kyesudde.”+ 13 Naye n’abagamba nti: “Mmwe mubawe eky’okulya.”+ Ne bamugamba nti: “Tulina emigaati etaano gyokka n’ebyennyanja bibiri; mpozzi okuggyako nga ffe tugenda ne tugulira abantu bano bonna eby’okulya.” 14 Baali abasajja nga 5,000. Awo n’agamba abayigirizwa be nti: “Mubatuuze mu bibinja bya bantu nga ataano ataano.” 15 Ne bakola bwe batyo, ne babatuuza bonna. 16 N’akwata emigaati etaano n’ebyennyanja ebibiri, n’atunula waggulu, n’asaba. Awo n’abimenyaamenyamu n’atandika okubiwa abayigirizwa be ne babigabira ekibiina ky’abantu. 17 Bonna ne balya ne bakkuta, era ebyafikkawo ne babikuŋŋaanya ne bijjuza ebisero 12.+
18 Oluvannyuma, bwe yali yekka ng’asaba, abayigirizwa ne bajja gy’ali, n’ababuuza nti: “Abantu bagamba nti nze ani?”+ 19 Ne bamuddamu nti: “Abamu bagamba nti Yokaana Omubatiza, abalala nti Eriya, ate abalala bagamba nti omu ku bannabbi ab’edda azuukidde.”+ 20 N’ababuuza nti: “Ate mmwe mugamba nti nze ani?” Peetero n’addamu nti: “Kristo wa Katonda.”+ 21 Awo n’abakuutira obutabuulirako muntu yenna,+ 22 naye n’abagamba nti: “Omwana w’omuntu ateekwa okubonyaabonyezebwa ennyo era abakadde ne bakabona abakulu n’abawandiisi bamwegaane, era attibwe,+ naye ku lunaku olw’okusatu azuukizibwe.”+
23 N’abagamba bonna nti: “Omuntu yenna bw’aba ayagala okungoberera, alekere awo okwetwala yekka+ asitule omuti gwe ogw’okubonaabona* buli lunaku, angobererenga.+ 24 Kubanga buli ayagala okulokola obulamu bwe alibufiirwa, naye buli afiirwa obulamu bwe ku lwange alibulokola.+ 25 Ddala kigasa ki omuntu okufuna ensi yonna naye n’afiirwa obulamu bwe oba n’atuukibwako akabi?+ 26 Buli ankwatirwa ensonyi nze era n’ebigambo byange, Omwana w’omuntu naye alimukwatirwa ensonyi bw’alijjira mu kitiibwa kye, n’ekya Kitaawe, era n’ekya bamalayika abatukuvu.+ 27 Mazima mbagamba nti waliwo abamu ku bali wano abatalirega ku kufa okutuusa nga bamaze okulaba Obwakabaka bwa Katonda.”+
28 Nga wayiseewo ennaku nga munaana oluvannyuma lw’okwogera ebigambo ebyo, n’atwala Peetero, Yokaana, ne Yakobo, n’agenda ku lusozi okusaba.+ 29 Bwe yali asaba, endabika ye ey’oku maaso n’ekyuka, era ekyambalo kye ne kifuuka kyeru nnyo era ne kimasamasa. 30 Era laba! abasajja babiri baali banyumya naye; omu yali Musa, ate omulala yali Eriya. 31 Baalabikira mu kitiibwa era ne batandika okwogera ku kugenda kwe, kwe yali anaatera okutuukiriza mu Yerusaalemi.+ 32 Peetero n’abo be yali nabo baali beebase, naye bwe baazuukuka ne balaba ekitiibwa kye+ n’abasajja ababiri abaali bayimiridde naye. 33 Abasajja abo bwe baali baawukana ne Yesu, Peetero n’amugamba nti: “Omuyigiriza, kirungi okuba nti tuli wano. N’olwekyo, ka tusimbe weema ssatu, ng’emu yiyo, endala nga ya Musa, ate endala nga ya Eriya.” Naye yali tategeera by’ayogera. 34 Bwe yali ayogera ebintu ebyo ekire ne kijja ne kibasiikiriza. Ekire bwe kyali kitandika okubabikka, ne batya. 35 Eddoboozi+ ne liva mu kire nga ligamba nti: “Ono ye Mwana wange eyalondebwa.+ Mumuwulirize.”+ 36 Bwe baawulira eddoboozi, ne balaba Yesu ng’ali yekka. Naye ne basirika, era ebintu bye baalaba tebaabibuulirako muntu n’omu mu kiseera ekyo.+
37 Ku lunaku olwaddirira bwe baava ku lusozi, ekibiina ekinene ne kimusisinkana.+ 38 Awo omusajja omu eyali mu kibiina ky’abantu n’ayogerera waggulu nti: “Omuyigiriza, nkusaba ojje olabe ku mwana wange, kubanga ye yekka gwe nnina.+ 39 Omwoyo omubi gumukwata, era amangu ago n’aleekaana, n’ajugumira era n’abimba ejjovu. Era kiba kizibu okumuvaako ne bwe guba gumaze okumutuusaako ebisago. 40 Nnasabye abayigirizwa bo bagugobe naye ne batasobola.” 41 Yesu n’agamba nti: “Mmwe ab’omulembe guno ogutalina kukkiriza era ogwakyama,+ ndibeera nammwe kutuusa ddi era ndimala nammwe kiseera kyenkana wa nga mbagumiikiriza? Omwana wo muleete wano.”+ 42 Bwe yali asembera, dayimooni n’emusuula wansi n’ajugumira nnyo. Naye Yesu n’aboggolera omwoyo ogwo omubi, n’awonya omulenzi, era n’amukwasa kitaawe. 43 Bonna ne beewuunya amaanyi ga Katonda amangi ennyo.
Bonna bwe baali beewuunya olw’ebintu byonna bye yali akola, n’agamba abayigirizwa be nti: 44 “Musseeyo omwoyo era mujjukire ebigambo bino, kubanga Omwana w’omuntu agenda kuliibwamu olukwe aweebweyo mu mikono gy’abantu.”+ 45 Naye tebaategeera bye yali ayogera. Mu butuufu, byabakwekebwa baleme okubitegeera, era baali batya okumubuuza ebigambo ebyo kye bitegeeza.
46 Awo ne batandika okukaayana bokka na bokka ani ku bo eyali asinga obukulu.+ 47 Yesu bwe yamanya ekyali mu mitima gyabwe, n’ayita omwana omuto n’amusembeza w’ali, 48 n’abagamba nti: “Buli asembeza omwana ono omuto ku lw’erinnya lyange, nange aba ansembezza; na buli ansembeza aba asembezza n’Oyo eyantuma.+ Kubanga oyo eyeetwala okuba owa wansi mu mmwe mmwenna ye mukulu.”+
49 Awo Yokaana n’amugamba nti: “Omuyigiriza, twalaba omusajja agoba dayimooni mu linnya lyo ne tugezaako okumugaana, kubanga takugoberera wamu naffe.”+ 50 Naye Yesu n’amugamba nti: “Temumugaana kubanga oyo atabaziyiza aba ku ludda lwammwe.”
51 Ekiseera bwe kyali kinaatera okutuuka atwalibwe mu ggulu,+ Yesu n’amalirira okugenda e Yerusaalemi. 52 Awo n’atuma ababaka okumukulemberamu. Ne bagenda, ne bayingira mu kabuga k’Abasamaliya okubaako bye bamutegekera. 53 Naye abaayo ne batamusembeza+ kubanga yali amaliridde kugenda Yerusaalemi. 54 Awo abayigirizwa, Yakobo ne Yokaana+ bwe baalaba kino ne bamugamba nti: “Mukama waffe, oyagala tugambe omuliro guve mu ggulu gubasaanyeewo?”+ 55 Naye n’akyuka n’abanenya. 56 Awo ne bagenda mu kabuga akalala.
57 Bwe baali mu kkubo nga batambula, ne wabaawo omuntu eyamugamba nti: “Nja kukugobereranga yonna gy’onoogendanga.” 58 Yesu n’amugamba nti: “Ebibe birina we bisula n’ebinyonyi birina ebisu, naye Omwana w’omuntu talina w’assa mutwe gwe.”+ 59 Awo n’agamba omulala nti: “Beera mugoberezi wange.” Omusajja n’agamba nti: “Mukama wange, nzikiriza nsooke ŋŋende nziike kitange.”+ 60 Naye n’amugamba nti: “Leka abafu+ baziike abafu baabwe, naye ggwe genda olangirire buli wamu amawulire ag’Obwakabaka bwa Katonda.”+ 61 Ate omulala n’agamba nti: “Nja kukugoberera Mukama wange, naye sooka onzikirize mmale okusiibula ab’ewaffe.” 62 Yesu n’amugamba nti: “Tewali muntu akwata ekyuma ekirima ate n’atunuulira ebiri emabega,+ asaanira Obwakabaka bwa Katonda.”+