Matayo
8 Bwe yava ku lusozi, ekibiina ky’abantu ne kimugoberera. 2 Awo omusajja eyalina ebigenge n’ajja gy’ali n’amuvunnamira, n’amugamba nti: “Mukama wange, bw’oba oyagala, osobola okunfuula omulongoofu.”+ 3 N’agolola omukono gwe, n’amukwatako, n’amugamba nti: “Njagala! Fuuka mulongoofu.”+ Amangu ago n’awona ebigenge.+ 4 Yesu n’amugamba nti: “Tobuulirako muntu yenna,+ naye genda weeyanjule eri kabona+ era oweeyo ekirabo nga Musa bwe yalagira,+ balyoke bakakase nti owonye.”
5 Bwe yayingira mu Kaperunawumu, omukulu w’ekibinja ky’abasirikale* n’ajja gy’ali, n’amwegayirira+ 6 ng’agamba nti: “Ssebo, omuddu wange ali mu nnyumba, yasannyalala era abonaabona nnyo.” 7 N’amugamba nti: “Bwe nnajjayo nja kumuwonya.” 8 Omusirikale n’amugamba nti: “Ssebo, sisaanira kukuyingiza mu nnyumba yange, naye yogera bwogezi kigambo, omuddu wange ajja kuwona. 9 Kubanga nange ndi muntu aliko abantwala, era nnina abasirikale be nkulira. Bwe ŋŋamba omu nti ‘Genda!’ ng’agenda; bwe ŋŋamba omulala nti, ‘Jjangu!’ ng’ajja, era bwe ŋŋamba omuddu wange nti, ‘Kola kino!’ ng’akikola.” 10 Yesu bwe yawulira ebyo, ne yeewuunya nnyo era n’agamba abaali bamugoberera nti: “Mazima mbagamba nti sirabangako muntu mu Isirayiri alina kukkiriza kwa maanyi nga kuno.+ 11 Naye mbagamba nti bangi baliva ebuvanjuba n’ebugwanjuba ne batuula wamu ne Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo mu Bwakabaka obw’omu ggulu;+ 12 naye abaana b’Obwakabaka balisuulibwa ebweru mu kizikiza. Eyo gye balikaabira era ne baluma obugigi.”+ 13 Awo Yesu n’agamba omusirikale nti: “Genda. Olw’okukkiriza kwo, ky’osabye ka kibeere bwe kityo.”+ Omuddu we n’awona ku ssaawa eyo yennyini.+
14 Awo Yesu bwe yayingira mu nnyumba ya Peetero, n’asanga maama wa muka Peetero+ ng’agalamidde, ng’omusujja gumuluma.+ 15 N’amukwata ku mukono,+ n’awona omusujja, n’ayimuka, n’atandika okumuweereza. 16 Bwe bwawungeera, ne bamuleetera abantu bangi abaaliko dayimooni; n’aziragira okubavaako era n’awonya bonna abaali balumizibwa, 17 ebyo nnabbi Isaaya bye yayogera ne biryoka bituukirira, ebigamba nti: “Ye kennyini yatwala obulwadde bwaffe era yeetikka obulumi bwaffe.”+
18 Yesu bwe yalaba ekibiina ky’abantu nga kimwetoolodde, n’agamba abayigirizwa be nti basomoke bagende emitala.+ 19 Awo ne wabaawo omuwandiisi eyajja gy’ali n’amugamba nti: “Omuyigiriza, nja kukugobereranga yonna gy’onoogendanga.”+ 20 Naye Yesu n’amugamba nti: “Ebibe birina we bisula n’ebinyonyi birina ebisu, naye Omwana w’omuntu talina w’assa mutwe gwe.”+ 21 Omuyigirizwa omulala n’amugamba nti: “Mukama wange, nzikiriza nsooke ŋŋende nziike kitange.”+ 22 Yesu n’amugamba nti: “Ngoberera; leka abafu baziike abafu baabwe.”+
23 Bwe yalinnya eryato, abayigirizwa be ne bamugoberera.+ 24 Awo omuyaga ogw’amaanyi ne gukunta ku nnyanja, amayengo ne gabuutikira eryato; naye Yesu yali yeebase.+ 25 Ne bagenda we yali ne bamuzuukusa nga bamugamba nti: “Mukama waffe, tunaatera okusaanawo, tuwonye!” 26 Naye n’abagamba nti: “Lwaki mutidde nnyo mmwe abalina okukkiriza okutono?”+ Awo n’ayimuka, n’aboggolera omuyaga n’ennyanja, era ennyanja n’eteeka.+ 27 Abayigirizwa ne bawuniikirira era ne bagamba nti: “Ono muntu wa ngeri ki? Omuyaga n’ennyanja nabyo bimuwulira.”
28 Bwe yatuuka emitala w’ennyanja mu kitundu ky’Abagadalena, n’asisinkana abasajja babiri abaaliko dayimooni nga bava mu kifo awaali entaana.*+ Baali bakambwe nnyo era nga tewali ayinza kwetantala kuyita mu kkubo eryo. 29 Ne baleekaana nga bagamba nti: “Otulanga ki ggwe Omwana wa Katonda?+ Ozze okutubonyaabonya+ ng’ekiseera ekigereke tekinnatuuka?”+ 30 Ewalako okuva we baali, waaliwo embizzi nga zirya.+ 31 Dayimooni ne zimwegayirira nga zigamba nti: “Bw’otugoba, tusindike mu ggana ly’embizzi.”+ 32 N’azigamba nti: “Mugende!” Ne zibavaamu, ne ziyingira mu ggana ly’embizzi; awo eggana lyonna ne lifubutuka, ne ligenda ku kagulungujjo k’olusozi, ne liwanukayo ne ligwa mu nnyanja, lyonna ne lifiira mu mazzi. 33 Naye abo abaali bazirunda ne badduka ne bagenda mu kibuga ne bategeeza abantu byonna ebyali bibaddewo n’ebikwata ku basajja abaaliko dayimooni. 34 Awo abantu b’omu kibuga bonna ne bajja okulaba Yesu; era bwe baamulaba, ne bamwegayirira ave mu kitundu kyabwe.+