Matayo
9 Awo n’asaabala mu lyato, n’atuuka emitala, n’agenda mu kibuga ky’ewaabwe.+ 2 Ne bamuleetera omusajja eyali yasannyalala, ng’agalamidde ku katanda. Yesu bwe yalaba nga balina okukkiriza, n’agamba oyo eyali yasannyalala nti: “Mwana wange, teweeraliikirira; osonyiyiddwa ebibi byo.”+ 3 Abamu ku bawandiisi ne bagambagana nti: “Omuntu ono avvoola.” 4 Yesu bwe yamanya kye balowooza n’abagamba nti: “Lwaki mulowooza ebintu ebibi mu mitima gyammwe?+ 5 Kiki ekisinga obwangu, okugamba nti, ‘Osonyiyiddwa ebibi byo,’ oba okugamba nti, ‘Yimuka otambule’?+ 6 Naye mmwe okusobola okukimanya nti Omwana w’omuntu alina obuyinza okusonyiwa ebibi ku nsi—” awo n’agamba oyo eyali yasannyalala nti: “Yimuka ositule akatanda ko ogende ewammwe.”+ 7 N’ayimuka n’agenda eka. 8 Abantu bwe baalaba ekyo ne batya, ne bagulumiza Katonda eyawa abantu obuyinza obwenkanidde awo.
9 Yesu bwe yali avaayo, n’alaba omusajja ayitibwa Matayo ng’atudde we basolooleza omusolo, n’amugamba nti: “Beera mugoberezi wange.” Awo n’ayimuka, n’amugoberera.+ 10 Oluvannyuma, Yesu bwe yali mu nnyumba ng’alya,* abasolooza omusolo n’aboonoonyi bangi ne bajja ne balya naye awamu n’abayigirizwa be.+ 11 Abafalisaayo bwe baakiraba ne bagamba abayigirizwa be nti: “Lwaki omuyigiriza wammwe alya n’abasolooza omusolo era n’aboonoonyi?”+ 12 Bwe yabawulira, n’agamba nti: “Abalamu tebeetaaga musawo; abalwadde be bamwetaaga.+ 13 Kale nno, mugende mutegeere amakulu g’ebigambo bino, ‘Njagala busaasizi so si ssaddaaka.’+ Sajja kuyita batuukirivu wabula aboonoonyi.”
14 Awo abayigirizwa ba Yokaana ne bajja ne bamubuuza nti: “Lwaki ffe n’Abafalisaayo tusiiba ng’ate bo abayigirizwa bo tebasiiba?”+ 15 Awo Yesu n’abagamba nti: “Mikwano gy’omugole omusajja+ bayinza okunakuwala ng’omugole oyo akyali nabo? Naye ekiseera kijja kutuuka omugole omusajja abaggibweko,+ era olwo bajja kusiiba. 16 Tewali atunga kiwero kipya ku kyambalo eky’okungulu ekikadde; kubanga ekiwero ekyo kyesika okuva ku kyambalo, ekituli ne kiba kinene n’okusingawo.+ 17 Era abantu tebateeka mwenge musu mu nsawo z’amaliba enkadde; singa baguteekamu, ensawo zaabika omwenge ne guyiika era ensawo ne zoonooneka. Naye abantu bateeka omwenge omusu mu nsawo z’amaliba empya era byombi ne bisigala nga biri mu mbeera nnungi.”
18 Bwe yali akyabagamba ebintu ebyo, omukungu omu n’ajja n’avunnama mu maaso ge, n’amugamba nti: “Muwala wange ateekwa okuba nga kati afudde; naye jjangu omukwateko, ajja kulamuka.”+
19 Yesu n’asituka n’amugoberera ng’ali n’abayigirizwa be. 20 Awo omukazi eyali alwadde ekikulukuto ky’omusaayi+ okumala emyaka 12 n’ava emabega n’akwata ku lukugiro lw’ekyambalo kya Yesu eky’okungulu,+ 21 kubanga yali agamba mu mutima gwe nti: “Ne bwe nnaakwata obukwasi ku kyambalo kye eky’okungulu nja kuwona.” 22 Yesu n’akyuka, n’amulaba, n’amugamba nti: “Muwala, totya; okukkiriza kwo kukuwonyezza.”+ Era okuva mu kiseera ekyo omukazi n’awona.+
23 Awo Yesu bwe yatuuka mu nnyumba y’omukungu oyo n’alaba abafuuwa emirere era n’abantu abaaziirana,+ 24 n’abagamba nti: “Muveewo; kubanga omuwala tafudde, wabula yeebase.”+ Awo ne batandika okumusekerera. 25 Amangu ddala ng’ekibiina ky’abantu kifulumye ebweru, Yesu n’ayingira n’akwata omukono gw’omuwala,+ era omuwala n’ayimuka.+ 26 Amawulire ago ne gabuna mu kitundu ekyo kyonna.
27 Yesu bwe yali ava eyo, abasajja babiri abazibe b’amaaso+ ne bamugoberera nga bwe boogerera waggulu nti: “Tusaasire, Omwana wa Dawudi.” 28 Bwe yayingira mu nnyumba, abazibe b’amaaso abo ne bajja gy’ali, n’ababuuza nti: “Mukkiriza nti nsobola okubawonya?”+ Ne bamuddamu nti: “Yee, Mukama waffe.” 29 Awo n’akwata ku maaso gaabwe+ n’agamba nti: “Olw’okukkiriza kwammwe, ka kibeere bwe kityo.” 30 Awo amaaso gaabwe ne gazibuka. Yesu n’abagamba nti: “Temubuulirako muntu n’omu.”+ 31 Naye bwe baafuluma, ne babunyisa ebimukwatako mu kitundu ekyo kyonna.
32 Bwe baali bavaayo, abantu ne bamuleetera omusajja eyali tayogera, ng’aliko dayimooni;+ 33 dayimooni bwe yamala okugobebwa omusajja n’atandika okwogera.+ Abantu ne bawuniikirira ne bagamba nti: “Kino tekirabwangako mu Isirayiri.”+ 34 Naye Abafalisaayo ne bagamba nti: “Agoba dayimooni ng’akozesa maanyi g’omufuzi wa badayimooni.”+
35 Awo Yesu n’agenda mu bibuga byonna ne mu byalo, ng’ayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, ng’abuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka era ng’awonya endwadde eza buli kika.+ 36 Bwe yalaba ekibiina ky’abantu n’abasaasira,+ kubanga baali babonaabona era nga basaasaanye ng’endiga ezitalina musumba.+ 37 Awo n’agamba abayigirizwa be nti: “Eby’okukungula bingi, naye abakozi batono.+ 38 Kale, musabe Nnannyini makungula aweereze abakozi mu mulimu gw’okukungula.”+