Yeremiya
14 Bino bye bigambo Yakuwa bye yagamba Yeremiya ku nsonga ey’ebyeya:+
2 Yuda ekungubaga,+ era enzigi zaayo zimenyesemenyese.
Zigudde ku ttaka nga zinakuwadde,
Era okukaaba kuwuliddwa mu Yerusaalemi.
3 Bakama baabwe batuma abaweereza baabwe amazzi.
Bagenda ku bidiba* naye tebagasangayo.
Bakomawo ng’ensumbi zaabwe nkalu.
Baswala era banakuwala,
Era beebikka ku mitwe.
5 N’empeewo ey’oku ttale erekawo omwana gwayo gwe yaakazaala
Olw’okuba tewali muddo.
6 Endogoyi ez’omu nsiko ziyimirira ku busozi obutaliiko bimera.
Ziwejjawejja ng’ebibe;
Amaaso gaazo tegakyalaba bulungi olw’okuba tewali muddo.+
7 Wadde ng’ensobi zaffe zitulumiriza,
Ai Yakuwa, baako ky’okolawo ku lw’erinnya lyo.+
Kubanga ebikolwa byaffe eby’obutali bwesigwa bingi,+
Era twonoonye mu maaso go.
8 Ai ggwe essuubi lya Isirayiri, Omulokozi we+ mu biseera eby’okulaba ennaku,
Lwaki obeera ng’omugenyi mu nsi?
Lwaki oba ng’omuntu ali ku lugendo akyama awantu n’asulawo olumu?
9 Lwaki oba ng’omuntu asobeddwa?
Lwaki obeera ng’omusajja ow’amaanyi atasobola kulokola?
Totwabulira.
10 Bw’ati Yakuwa bw’ayogera ku bantu bano: “Baagala okubungeeta;+ tebaziyizza bigere byabwe.+ Yakuwa kyava tabasanyukira.+ Kaakano agenda kujjukira ensobi zaabwe era ababonereze olw’ebibi byabwe.”+
11 Awo Yakuwa n’aŋŋamba nti: “Abantu bano tobasabira birungi.+ 12 Bwe basiiba, siwuliriza kwegayirira kwabwe,+ era bwe bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke, sibisanyukira,+ era nja kubatta n’ekitala, n’enjala, n’endwadde.”+
13 Awo ne ŋŋamba nti: “Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna! Laba, bannabbi babagamba nti, ‘Temujja kuba na lutalo, wadde enjala, naye Katonda ajja kubawa emirembe egya nnamaddala mu kifo kino.’”+
14 Awo Yakuwa n’aŋŋamba nti: “Bannabbi balagula bya bulimba mu linnya lyange.+ Sibatumye wadde okubalagira wadde okwogera nabo.+ Okwolesebwa okw’obulimba n’eby’obulaguzi ebitagasa, era n’obulimba obuli mu mitima gyabwe bye bababuulira.+ 15 Kale bw’ati Yakuwa bw’ayogera ku bannabbi abalagula mu linnya lyange wadde nga saabatuma, era abagamba nti tewajja kubaawo lutalo na njala mu nsi eno. ‘Bannabbi abo bajja kufa ekitala n’enjala.+ 16 Era abantu abo abawuliriza bye balagula bajja kufa ekitala n’enjala, emirambo gyabwe gisuulibwe mu nguudo za Yerusaalemi, era tewajja kubaawo abaziika,+ bo ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe, ne bawala baabwe, kubanga nja kubatuusaako akabi akabagwanira.’+
17 “Bategeeze ebigambo bino:
‘Amaaso gange ka gakulukuse amaziga emisana n’ekiro; ka galeme kulekera awo,+
Kubanga omuwala embeerera ow’abantu bange akubiddwa nnyo,+
Era alina ekiwundu kinene.
18 Bwe ŋŋenda ku ttale ne ntunula,
Ndaba abo abattiddwa ekitala!+
Bwe nnyingira mu kibuga,
Ndaba endwadde ezireeteddwa enjala!+
Bannabbi ne bakabona babundirabundira mu nsi gye batamanyi.’”+
19 Ai Katonda, weesambidde ddala Yuda, era okyaye Sayuuni?+
Lwaki otukubye, ne tuba nga tetusobola kuwona?+
Waaliwo essuubi ery’okufuna emirembe, naye tewali kirungi ekyajja,
N’essuubi ery’okuwonyezebwa, naye entiisa y’eriwo!+
20 Tukkirizza nti tuli bantu babi nnyo, Ai Yakuwa,
Era tukkirizza n’ensobi za bajjajjaffe,
Kubanga twonoonye mu maaso go.+
21 Totwesamba ku lw’erinnya lyo;+
Tonyooma ntebe yo ey’ekitiibwa.
Jjukira endagaano gye wakola naffe, era togimenya.+
22 Ebifaananyi by’ab’amawanga ebitalina mugaso bisobola okutonnyesa enkuba?
Oba eggulu lisobola okutonnyesa enkuba ku bwalyo?
Ggwe wekka asobola okukikola, Ai Yakuwa Katonda waffe.+
Essuubi lyaffe liri mu ggwe,
Kubanga ggwe wekka akoze ebintu ebyo byonna.