Engero
3 Buli ky’okola kikwase Yakuwa,+
Olwo nno by’oteekateeka bijja kugenda bulungi.
4 Buli kimu Yakuwa alina bw’akikoze okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye,
N’ababi abaleetera okuzikirizibwa ku lunaku olw’akatyabaga.+
6 Obwesigwa n’okwagala okutajjulukuka bisobozesa ekibi okusonyiyibwa,+
N’okutya Yakuwa kuleetera omuntu okwewala okukola ebibi.+
7 Yakuwa bw’asanyukira omuntu by’akola,
Aleetera n’abalabe b’omuntu oyo okutabagana naye.+
9 Omuntu ayinza okuteekateeka mu mutima gwe ky’anaakola,
Naye Yakuwa y’aluŋŋamya ebigere bye.+
10 Katonda ky’aba asazeewo kye kisaanidde okuba ku mimwa gya kabaka;+
Era tateekeddwa kusala misango mu ngeri etali ya bwenkanya.+
11 Ebipima ebituufu ne minzaani entuufu biva eri Yakuwa;
Amayinja gonna ag’okupimisa agali mu nsawo ye yagakola.+
13 Bakabaka basanyukira abo aboogera eby’obutuukirivu.
Baagala omuntu ayogera amazima.+
15 Kabaka bw’alaga omuntu ekisa, omuntu oyo aba n’obulamu obweyagaza;
Ekisa kya kabaka kiba ng’ekire ky’enkuba ey’omu ttoggo.+
16 Okufuna amagezi nga kisingira wala okufuna zzaabu!+
N’okufuna okutegeera kisinga okufuna ffeeza.+
17 Abagolokofu beewala ekkubo ebbi.
Era omuntu eyeegendereza mu kkubo lye awonya obulamu bwe.+
18 Amalala gaviirako omuntu okugwa,
Era okwegulumiza kuviirako omuntu okwesittala.+
20 Omuntu ayoleka amagezi mu by’akola ajja kutuuka ku buwanguzi,*
Era alina essanyu oyo eyeesiga Yakuwa.
22 Okutegeera nsulo ya bulamu eri abo abakulina,
Naye abasirusiru bakangavvulwa obusirusiru bwabwe.
23 Omutima gw’omuntu ow’amagezi guwa akamwa ke okutegeera,+
Era gumusobozesa okwogera ebigambo ebisikiriza.
24 Ebigambo ebirungi biringa ebisenge by’omubisi gw’enjuki,
Biwoomera omuntu era biwonya amagumba.+
25 Waliwo ekkubo omuntu ly’alaba ng’ettuufu,
Naye nga ku nkomerero litwala mu kufa.+
29 Omuntu akola ebikolwa eby’obukambwe asendasenda munne,
N’amutwala mu kkubo ekkyamu.
30 Atta ku liiso ng’ateekateeka okukola akabi.
Aluma emimwa ng’akola ebibi.