Engero
25 Na zino ngero za Sulemaani,+ abasajja ba Keezeekiya+ kabaka wa Yuda ze baakoppolola:
2 Ekitiibwa kya Katonda kwe kukuuma ensonga nga ya kyama,+
Era ekitiibwa kya bakabaka kwe kwekenneenya obulungi ensonga.
3 Ng’eggulu bwe liri waggulu ennyo era ng’ensi bw’ekka wansi ennyo,
N’omutima gwa bakabaka nagwo bwe gutyo tegukeberekeka.
4 Ggya amasengere mu ffeeza,
Aveemu ng’alongookedde ddala.+
5 Ggya omubi mu maaso ga kabaka,
Entebe ye ey’obwakabaka enywezebwe mu butuukirivu.+
6 Teweegulumizanga mu maaso ga kabaka,+
Era teweeteekanga mu b’ekitiibwa,+
7 Waakiri ye akugambe nti, “Jjangu otuule wano,”
Mu kifo ky’okukufeebya mu maaso g’omuntu ow’ekitiibwa.+
8 Toyanguwanga kuwaaba musango,
Kubanga onookola ki nga munno awozezza n’akusinga?+
9 Ensonga mugyogereko ne munno,+
Naye toyasanguza byakugambibwa mu kyama,*+
10 Awulira aleme kukuswaza
Ng’olaalaasizza ebigambo ebitali birungi* by’otasobola kuzzaayo.
12 Omuntu ow’amagezi anenya omuntu awuliriza
Alinga empeta ey’oku matu eya zzaabu, oba amajolobero aga zzaabu omulungi.+
13 Omubaka omwesigwa eri abo abamutuma
Alinga amazzi agannyogoga* mu kiseera eky’amakungula
Kubanga azzaamu mukama we amaanyi.+
16 Bw’osanga omubisi gw’enjuki, olyangako ogwo ogukumala,
Kubanga bw’olya omungi, oyinza okugusesema.+
17 Tokyalakyalanga mu maka ga munno,
Aleme okukwetamwa n’akukyawa.
18 Omuntu awa obujulizi obw’obulimba ku munne
Aba ng’embukuuli n’ekitala n’akasaale akoogi.+
19 Okussa obwesige mu muntu ateesigika* mu biseera eby’obuyinike,
Kufaananako okuba n’erinnyo erimenyese oba ekigere ekinuuse.
20 Omuntu ayimbira ow’omutima omwennyamivu
Aba ng’omuntu eyeeyambula engoye mu budde obunnyogovu
Oba ng’omwenge omukaatuufu oguyiiriddwa ku kisula.+
21 Omulabe wo* bw’aba alumwa enjala, muwe emmere alye;
Bw’aba alumwa ennyonta, muwe amazzi anywe,+
22 Kubanga ojja kuba otuuma amanda agaaka ku mutwe gwe,*+
Era Yakuwa ajja kukuwa empeera.
23 Embuyaga y’ebukiikakkono ereeta enkuba,
N’olulimi olw’olugambo luleetera omuntu okusunguwala.+
25 Amawulire amalungi agava mu nsi ey’ewala,
Gabanga okunywa amazzi agannyogoga ng’obadde olumwa ennyonta.+
26 Omuntu omutuukirivu eyekkiriranya eri omubi*
Aba ng’oluzzi olwonoonese, oba ng’ensulo y’amazzi etabanguse.