Engero
28 Ababi badduka nga tewali abagoba,
Naye abatuukirivu bagumu ng’empologoma.+
2 Ensi bw’ebaamu obujeemu, eba n’abafuzi ab’omuddiŋŋanwa,+
Naye omufuzi bw’ayambibwa omuntu omutegeevu era ow’amagezi awangaala nnyo.+
3 Omuntu omwavu akumpanya abanaku,+
Aba ng’enkuba etwala emmere yonna.
4 Abo abatakwata mateeka batendereza omubi,
Naye abo abakwata amateeka babasunguwalira.+
6 Omwavu atambulira mu bugolokofu,
Asinga omugagga atambulira mu makubo amakyamu.+
7 Omwana omutegeevu akwata amateeka,
Naye munne w’ab’omululu aswaza kitaawe.+
8 Oyo agaggawala olw’okuggya amagoba ku abo b’awola,+
Obugagga bwe abukuŋŋaanyiza oyo asaasira abaavu.+
10 Oyo awabya omugolokofu n’amutwala mu kkubo ekkyamu ajja kugwa mu kinnya ye kennyini ky’asimye,+
Naye ataliiko kya kunenyezebwa ajja kusikira ebirungi.+
12 Abatuukirivu bwe bawangula, kiba kya kitiibwa,
Naye ababi bwe bafuna obuyinza, abantu beekweka.+
13 Oyo abikka ku bibi bye ebintu tebijja kumugendera bulungi,+
Naye buli ayatula ebibi bye n’abireka ajja kusaasirwa.+
14 Alina essanyu omuntu aba omwegendereza buli kiseera,*
Naye akakanyaza omutima gwe ajja kufuna ebizibu.+
15 Omufuzi afuga obubi abantu abateesobola,
Aba ng’empologoma ewuluguma oba ng’eddubu eriswakidde.+
16 Omukulembeze atategeera akozesa bubi obuyinza bwe,+
Naye oyo akyawa okwefunira ebintu mu makubo amakyamu ajja kuwangaala.+
17 Oyo omutima gwe gulumiriza olw’okutta omuntu anaabungeetanga okutuusa lw’aligenda mu ntaana.*+
Tewabangawo amuyamba.
18 Oyo atambulira mu bugolokofu ajja kulokolebwa,+
Naye atambulira mu makubo amakyamu ajja kugwa mbagirawo.+
19 Omuntu alima ennimiro ye anaabanga n’emmere nnyingi,
Naye oyo akola ebitagasa ajja kwavuwala.+
20 Omuntu omwesigwa anaafunanga emikisa mingi,+
Naye oyo ayagala okugaggawala amangu taaleme kubaako kya kunenyezebwa.+
21 Okusosola si kirungi;+
Naye omuntu ayinza okukola ekintu ekibi olw’okwagala okufuna eky’okulya.
22 Omuntu ow’ensaalwa* ayagala nnyo okugaggawala,
Kyokka n’atamanya nti aliyavuwala.
24 Oyo anyaga kitaawe ne nnyina n’agamba nti, “Si kikyamu,”+
Aba munne w’oyo asaanyaawo ebintu.+
27 Buli agabira abaavu taajulenga kintu kyonna,+
Naye oyo azibiriza amaaso ge aleme kubalaba alikolimirwa ebikolimo bingi.
28 Ababi bwe bafuna obuyinza, abantu beekweka;
Naye bwe bazikirira abatuukirivu beeyongera.+