Abaruumi
13 Buli muntu agonderenga ab’obuyinza,+ kubanga tewali buyinza butava eri Katonda;+ ab’obuyinza abaliwo, bali mu bifo byabwe eby’enjawulo ku bwa Katonda.+ 2 N’olwekyo oyo awakanya ab’obuyinza aba awakanya enteekateeka ya Katonda; abo abawakanya enteekateeka ya Katonda bajja kusalirwa omusango. 3 Abo abafuga batiibwa. Tebatiibwa abo abakola ebirungi, wabula abakola ebintu ebibi.+ Kale oyagala obutatya ba buyinza? Kolanga ebirungi,+ bajja kukutendereza; 4 kubanga baweereza ba Katonda olw’obulungi bwo. Naye bw’oba ng’okola ebintu ebibi, tya, kubanga tebakwatira bwereere kitala. Baweereza ba Katonda, abawoolera eggwanga okwoleka obusungu bwa Katonda eri oyo akola ebintu ebibi.
5 N’olwekyo, kibeetaagisa okugondera ab’obuyinza, si lwa kutya kwolekezebwa busungu bwa Katonda kyokka, naye era ne ku lw’omuntu wammwe ow’omunda.+ 6 Eno ye nsonga lwaki nammwe muwa omusolo; kubanga ab’obuyinza baweereza ba Katonda abatuukiriza bulijjo obuweereza bwabwe. 7 Bonna mubawe bye muteekeddwa okubawa: oyo asaba omusolo, mumuwe omusolo;+ asaba empooza, mumuwe empooza; ayagala okutiibwa, mumutye;+ ayagala okuweebwa ekitiibwa mumuwe ekitiibwa.+
8 Temubanga na bbanja eri omuntu yenna, wabula mwagalanenga;+ kubanga oyo ayagala muntu munne aba atuukirizza amateeka.+ 9 Kubanga amateeka gano, “Toyendanga,+ tottanga,+ tobbanga,+ teweegombanga,”+ n’amalala gonna, gawumbibwawumbibwako mu bigambo bino: “Oyagalanga muliraanwa* wo nga bwe weeyagala.”+ 10 Omuntu alina okwagala takola munne kibi;+ n’olwekyo, okwagala kutuukiriza amateeka.+
11 Na kino mukikole, kubanga mumanyi ekiseera kye tulimu, nti essaawa etuuse mmwe okuzuukuka mu tulo,+ kubanga kaakano obulokozi bwaffe buli kumpi n’okusinga mu kiseera we twafuukira abakkiriza. 12 Ekiro kinaatera okuggwaako; olunaku lusembedde. N’olwekyo ka tweyambuleko ebikolwa eby’ekizikiza+ twambale eby’okulwanyisa eby’ekitangaala.+ 13 Tutambule bulungi+ ng’abatambula mu budde obw’emisana, si kubeera mu binyumu, mu kutamiira, mu bwenzi, mu bugwagwa,*+ mu kuyomba n’okukwatibwa obuggya.+ 14 Naye mwambale Mukama waffe Yesu Kristo,+ era temweteekerateekera kukola ebyo omubiri bye gwegomba.+