Danyeri
9 Mu mwaka ogwasooka ogwa Daliyo+ mutabani wa Akaswero, muzzukulu w’Abameedi, eyaweebwa okufuga obwakabaka bw’Abakaludaaya+— 2 mu mwaka ogwasooka ogw’obufuzi bwe, nze Danyeri, nnategeera okusinziira ku bitabo* emyaka egyogerwako mu kigambo kya Yakuwa eri nnabbi Yeremiya, Yerusaalemi gye kyandimaze nga kiri matongo,+ kwe kugamba, emyaka 70.+ 3 Awo amaaso gange ne ngazza eri Yakuwa Katonda ow’amazima, ne mmusaba nga mmwegayirira, ne nsiiba,+ ne nnyambala ebibukutu, era ne nneeyiira evvu. 4 Nnasaba Yakuwa Katonda wange era ne njatula ebibi byaffe, ne ŋŋamba nti:
“Ai Yakuwa Katonda ow’amazima, omukulu era ow’entiisa, akuuma endagaano ye era alaga okwagala okutajjulukuka+ eri abo abamwagala era abakwata ebiragiro bye;+ 5 twayonoona, twakola ebikyamu, twakola ebintu ebibi, era twakujeemera;+ twawaba ne tuva ku biragiro byo ne ku mateeka go. 6 Tetwawuliriza baweereza bo bannabbi+ abaayogerera mu linnya lyo eri bakabaka baffe, abaami baffe, bajjajjaffe, n’abantu bonna ab’omu nsi yaffe. 7 Ai Yakuwa, ggwe oli mutuukirivu, naye ffe twereetako obuswavu bulijjo nga bwe kiri leero, ffe abantu b’omu Yuda, n’ab’omu Yerusaalemi, ne Isirayiri yonna, abali okumpi n’abali ewala mu nsi zonna gye wabasaasaanyiza, olw’obutaba beesigwa gy’oli.+
8 “Ai Yakuwa, tuswadde ffe ne bakabaka baffe n’abaami baffe ne bajjajjaffe, kubanga twayonoona mu maaso go. 9 Ai Yakuwa Katonda waffe, oli musaasizi era osonyiwa,+ naye ffe twakujeemera.+ 10 Tetwawuliriza ddoboozi lyo, Ai Yakuwa Katonda waffe, bwe tutaagondera mateeka ge watuwa okuyitira mu baweereza bo bannabbi.+ 11 Isirayiri yonna yamenya Amateeka go n’ewaba bw’etaawuliriza ddoboozi lyo; kyewava otuleetako ekikolimo n’ekirayiro ebyawandiikibwa mu Mateeka ga Musa omuweereza wa Katonda ow’amazima,+ kubanga twakujeemera. 12 Watuukiriza bye wagamba okutukola ffe+ n’abafuzi baffe abaali batufuga,* bwe watuleetako akabi ak’amaanyi. Ekyakolebwa mu Yerusaalemi tekikolebwangako wansi w’eggulu.+ 13 Nga bwe kyawandiikibwa mu Mateeka ga Musa, akabi kano katutuuseeko,+ kyokka tetukwegayiridde ggwe Yakuwa Katonda waffe kutulaga kisa nga tulekayo ensobi zaffe+ era nga tukyoleka nti tutegeera amazima go.*
14 “Bw’otyo Yakuwa kyewava obeera obulindaala, n’otuleetako akabi kano, kubanga ggwe Yakuwa Katonda waffe oli mutuukirivu mu bikolwa byo byonna, naye ffe tetwawuliriza ddoboozi lyo.+
15 “Ai Yakuwa Katonda waffe, ggwe eyaggya abantu bo mu nsi ya Misiri n’omukono ogw’amaanyi+ ne weekolera erinnya n’okutuusa leero,+ twayonoona era twakola ebintu ebibi. 16 Ai Yakuwa, ng’ebikolwa byo byonna eby’obutuukirivu bwe biri,+ tukwegayiridde, ggya obusungu bwo n’ekiruyi kyo ku Yerusaalemi ekibuga kyo, olusozi lwo olutukuvu; kubanga olw’ebibi byaffe n’ensobi za bajjajjaffe, Yerusaalemi n’abantu bo tufuuse kivume eri abantu bonna abatwetoolodde.+ 17 Era kaakano Ai Katonda waffe, wuliriza okusaba kw’omuweereza wo n’okwegayirira kwe, ekifo kyo ekitukuvu ekyazika+ okikolere ebirungi,+ ku lw’ekitiibwa kyo, Ai Yakuwa. 18 Tega okutu owulire, Ai Katonda wange! Zibula amaaso go olabe okubonaabona kwaffe n’ekibuga ekiyitibwa erinnya lyo. Tukwegayirira, si lwa kuba nti twakola eby’obutuukirivu, wabula olw’okusaasira kwo okungi.+ 19 Wulira, Ai Yakuwa. Sonyiwa,+ Ai Yakuwa. Tuwulire era otuyambe, Ai Yakuwa! Ai Katonda wange, tolwa ku lw’erinnya lyo, kubanga ekibuga kyo n’abantu bo biyitibwa erinnya lyo.”+
20 Bwe nnali nkyayogera, nga nsaba, nga njatula ebibi byange n’eby’abantu bange, Isirayiri, era nga nneegayirira Yakuwa Katonda wange akwatirwe olusozi lwe olutukuvu ekisa;+ 21 bwe nnali nga nkyasaba, omusajja Gabulyeri+ gwe nnali ndabye emabegako mu kwolesebwa,+ n’ajja gye ndi nga nkooye nnyo, awo nga mu kiseera eky’okuwaayo ekirabo eky’akawungeezi. 22 N’ansobozesa okutegeera, ng’agamba nti:
“Ggwe Danyeri, nzize okukuwa amagezi n’okutegeera. 23 Bwe watandise okwegayirira, ekigambo ne kifuluma era nzize okukikutegeeza, kubanga oli wa muwendo nnyo.*+ N’olwekyo, fumiitiriza ku nsonga eno era otegeere okwolesebwa.
24 “Waliwo wiiki* 70 eziteereddwawo abantu bo n’ekibuga kyo ekitukuvu,+ okukomya okwonoona, okumalawo ekibi,+ okutangirira ebisobyo,+ okuleeta obutuukirivu obw’olubeerera,+ okussa akabonero ku kwolesebwa ne ku bunnabbi,*+ n’okufuka amafuta ku Awasinga Obutukuvu. 25 Manya era otegeere nti okuva ekigambo lwe kifuluma okuzzaawo n’okuddamu okuzimba Yerusaalemi+ okutuusa Masiya*+ Omukulembeze+ lw’alijja, walibaawo wiiki 7 ne wiiki 62.+ Kirizzibwawo era kiriddamu okuzimbibwa, nga kirina ekibangirizi n’olukonko, naye mu biseera eby’obuyinike.
26 “Oluvannyuma lwa wiiki 62 Masiya alittibwa+ nga talina ky’alina.+
“N’abantu b’omukulembeze alijja balizikiriza ekibuga n’ekifo ekitukuvu,+ era kirizikirizibwa na mataba. Era okutuusa ku nkomerero walibaawo olutalo; ekisaliddwawo kwe kuzikirizibwa.+
27 “Era alireka endagaano okusigala ng’ekyakola ku lw’abangi okumala wiiki emu, era mu makkati ga wiiki alikomya ssaddaaka n’ekiweebwayo.+
“Era ku kiwaawaatiro ky’ebintu ebyenyinyaza kulibaako oyo aleeta okuzikirira;+ era okutuusa okusaanyaawo lwe kulijja, ekyasalibwawo kirifukibwa ne ku oyo eyasigala amatongo.”