1 Yokaana
2 Baana bange abato, mbawandiikira ebintu bino mulemenga okukola ekibi. Naye omuntu yenna bw’akola ekibi, tulina omuyambi* ali ne Kitaffe, Yesu Kristo+ omutuukirivu.+ 2 Ye ssaddaaka etangirira+ ebibi byaffe+ era etutabaganya ne Katonda, naye si byaffe byokka wabula n’eby’ensi yonna.+ 3 Bwe tweyongera okukwata ebiragiro bye, ku ekyo kwe tutegeerera nti tumumanyi. 4 Oyo agamba nti, “Mmumanyi,” kyokka nga takwata biragiro bye, aba mulimba era amazima tegaba mu ye. 5 Naye buli akwata ekigambo kye, mazima ddala okwagala kwa Katonda kuba kutuukiridde mu muntu oyo.+ Ku ekyo kwe tumanyira nti tuli bumu naye.+ 6 Oyo agamba nti ali bumu naye avunaanyizibwa okutambulanga ng’oyo bwe yatambula.+
7 Abaagalwa, sibawandiikira kiragiro kipya, wabula ekikadde kye mwawulira okuva ku lubereberye.+ Ekiragiro kino ekikadde kye kigambo kye mwawulira. 8 Nate mbawandiikira ekiragiro ekipya, ekiragiro kye yagoberera era nammwe kye mwagoberera, kubanga ekizikiza kiggwaawo era ekitangaala eky’amazima kyaka kaakano.+
9 Oyo agamba nti ali mu kitangaala naye n’akyawa+ muganda we, akyali mu kizikiza n’okutuusa kaakano.+ 10 Oyo ayagala muganda we, asigala mu kitangaala,+ era tewali kimwesittaza. 11 Naye oyo atayagala muganda we ali mu kizikiza era atambulira mu kizikiza,+ era tamanyi gy’alaga+ kubanga ekizikiza kimuzibye amaaso.
12 Mbawandiikira mmwe abaana abato, kubanga musonyiyiddwa ebibi byammwe ku lw’erinnya lye.+ 13 Mbawandiikira mmwe bataata, kubanga oyo eyaliwo okuva ku lubereberye mumumanyi. Mbawandiikira mmwe abavubuka, kubanga muwangudde omubi.+ Mbawandiikira mmwe abaana abato, kubanga mumanyi Kitaffe.+ 14 Mbawandiikira mmwe bataata, kubanga oyo eyaliwo okuva ku lubereberye mumumanyi. Mbawandiikira mmwe abavubuka, kubanga muli ba maanyi+ era ekigambo kya Katonda kiri mu mmwe+ era muwangudde omubi.+
15 Temwagalanga nsi newakubadde ebintu ebiri mu nsi.+ Omuntu yenna bw’ayagala ensi okwagala kwa Kitaffe tekuba mu ye;+ 16 kubanga buli kintu ekiri mu nsi—okwegomba kw’omubiri,+ okwegomba kw’amaaso,+ n’okweraga* olw’ebintu omuntu by’alina mu bulamu—tebiva eri Kitaffe wabula biva eri ensi. 17 Ate era, ensi eggwaawo n’okwegomba kwayo,+ naye oyo akola Katonda by’ayagala abeerawo emirembe gyonna.+
18 Abaana abato, eno ye ssaawa esembayo, era nga bwe mwawulira nti omulabe wa Kristo ajja,+ ne kaakano waliwo abalabe ba Kristo bangi;+ era nga ku kino kwe tutegeerera nti eno ye ssaawa esembayo. 19 Baava mu ffe naye tebaali bamu ku ffe;*+ kubanga singa baali bamu ku ffe bandibadde basigala mu ffe. Naye baagenda kisobole okweyoleka nti si buli omu nti ali omu ku ffe.+ 20 Era Katonda omutukuvu mmwe yabafukako omwoyo,+ era mmwenna mumanyi amazima. 21 Mbawandiikira, si lwa kuba nti temumanyi mazima+ naye lwa kuba mugamanyi era olw’okuba tewali bulimba buva mu mazima.+
22 Ani mulimba? Si y’oyo agamba nti Yesu si ye Kristo?+ Oyo ye mulabe wa Kristo+ eyeegaana Kitaffe n’Omwana. 23 Oyo yenna eyeegaana Omwana tasiimibwa Kitaffe.+ Oyo ayatula Omwana+ asiimibwa Kitaffe.+ 24 Naye mmwe, ekyo kye mwawulira okuva ku lubereberye kibeerenga mu mmwe.+ Ekyo kye mwawulira okuva ku lubereberye bwe kibeera mu mmwe mujja kubeera bumu n’Omwana era ne Kitaffe. 25 Ate era, ye kennyini kino kye yatusuubiza—obulamu obutaggwaawo.+
26 Mbawandiikira ebintu bino olw’abo abagezaako okubawabya. 27 Era Katonda yabafukako omwoyo gwe+ era omwoyo ogwo gusigala mu mmwe, era temwetaaga muntu yenna kubayigiriza; kubanga omwoyo gwe yabafukako gubayigiriza ebintu byonna,+ era gwa mazima, si gwa bulimba; era nga bwe gwabayigiriza, musigale nga muli bumu naye.+ 28 N’olwekyo abaana abato, musigale nga muli bumu naye, bw’alirabisibwa tusobole okwogera n’obuvumu+ era tuleme kuswala ne tuva w’ali mu kiseera ky’okubeerawo kwe. 29 Bwe muba nga mumanyi nti mutuukirivu, era muba mumanyi nti oyo yenna akola eby’obutuukirivu aba azaaliddwa ye.+