Ezeekyeri
20 Awo ku lunaku olw’ekkumi, olw’omwezi ogw’okutaano, mu mwaka ogw’omusanvu, abamu ku bakadde ba Isirayiri ne bajja ne batuula mu maaso gange okwebuuza ku Yakuwa. 2 Yakuwa n’aŋŋamba nti: 3 “Omwana w’omuntu, yogera n’abakadde ba Isirayiri obagambe nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Muzze okunneebuuzaako? ‘Kale nga bwe ndi omulamu, sijja kubaddamu,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”’
4 “Oli mwetegefu okubasalira omusango? Omwana w’omuntu, oli mwetegefu okubasalira omusango? Bategeeze eby’omuzizo bajjajjaabwe bye baakola.+ 5 Bagambe nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Ku lunaku lwe nnalonda Isirayiri,+ nnalayirira* abaana ba Yakobo, ne nneemanyisa gye bali nga bali mu nsi ya Misiri.+ Mazima ddala nnabalayirira ne mbagamba nti, ‘Nze Yakuwa Katonda wammwe.’ 6 Ku lunaku olwo nnalayira okubaggya mu nsi ya Misiri mbatwale mu nsi gye nnabanoonyeza,* ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.+ Ensi eyo ye yali esinga ensi endala zonna okulabika obulungi. 7 Awo ne mbagamba nti, ‘Buli omu asuule ebintu eby’omuzizo ebiri mu maaso ge; temwefuula abatali balongoofu na bifaananyi by’e Misiri ebyenyinyaza.*+ Nze Yakuwa Katonda wammwe.’+
8 “‘“Naye banjeemera, ne bagaana okumpuliriza. Tebaasuula bintu eby’omuzizo ebyali mu maaso gaabwe, era tebaaleka bifaananyi by’e Misiri ebyenyinyaza.+ N’olwekyo nnamalirira okubafukako obusungu bwange n’okubamalirako ekiruyi kyange mu nsi ya Misiri. 9 Naye nnina kye nnakolawo olw’erinnya lyange, lireme okuvumaganyizibwa mu mawanga mwe baali.+ Kubanga nneemanyisa gye bali* mu maaso g’amawanga ago bwe nnabaggya mu nsi ya Misiri.+ 10 Bwe ntyo ne mbaggya mu nsi ya Misiri ne mbatwala mu ddungu.+
11 “‘“Nnabawa amateeka gange ne mbamanyisa n’ebiragiro byange,+ omuntu abigoberera asobole okuba omulamu.+ 12 Era nnabawa ne ssabbiiti zange+ zibe akabonero wakati wange nabo,+ balyoke bamanye nga nze Yakuwa nze mbatukuza.
13 “‘“Naye ab’ennyumba ya Isirayiri banjeemera mu ddungu.+ Tebaatambulira mu mateeka gange era baagaana okukwata ebiragiro byange, ebisobozesa omuntu abigoberera okuba omulamu. Bavvoola ssabbiiti zange. N’olwekyo nnamalirira okubafukako obusungu bwange mu ddungu mbazikirize.+ 14 Nnina kye nnakolawo olw’erinnya lyange, lireme okuvumaganyizibwa mu mawanga, agaalaba nga mbaggya* mu nsi ya Misiri.+ 15 Ate era nnabalayirira mu ddungu nti siribatwala mu nsi gye nnali mbawadde+—ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki,+ ensi esinga ensi endala zonna okulabika obulungi— 16 kubanga baagaana okukwata ebiragiro byange, tebaatambulira mu mateeka gange, era bavvoola ssabbiiti zange, kubanga emitima gyabwe gyali gigoberera ebifaananyi byabwe ebyenyinyaza.+
17 “‘“Naye nnabakwatirwa* ekisa ne sibazikiriza; saabasaanyaawo mu ddungu. 18 Nnagamba abaana baabwe mu ddungu+ nti, ‘Temutambulira mu biragiro bya bajjajjammwe,+ temukwata mateeka gaabwe, era temwefuula abatali balongoofu na bifaananyi byabwe ebyenyinyaza. 19 Nze Yakuwa Katonda wammwe. Mutambulire mu mateeka gange era mukwate ebiragiro byange.+ 20 Mutukuze ssabbiiti zange,+ era zinaabanga akabonero wakati wange nammwe, mulyoke mumanye nti nze Yakuwa Katonda wammwe.’+
21 “‘“Naye abaana banjeemera.+ Tebaatambulira mu mateeka gange era tebaakwata biragiro byange, ebisobozesa omuntu abigoberera okuba omulamu. Bavvoola ssabbiiti zange, n’olwekyo nnamalirira okubafukako obusungu bwange n’okubamalirako ekiruyi kyange mu ddungu.+ 22 Naye ekyo saakikola,+ wabula nnina kye nnakolawo olw’erinnya lyange,+ lireme okuvumaganyizibwa mu maaso g’amawanga, agaalaba nga mbaggya* mu nsi ya Misiri. 23 Era nnabalayirira mu ddungu nti ndibasaasaanya mu mawanga ne mu nsi ez’enjawulo,+ 24 kubanga tebaakwata biragiro byange, baagaana okukwata amateeka gange,+ bavvoola ssabbiiti zange, era baagoberera* ebifaananyi bya bajjajjaabwe ebyenyinyaza.+ 25 Era nnabaleka okugoberera amateeka agataali malungi, n’ebiragiro ebitandibasobozesezza kuba balamu.+ 26 Ne mbaleka okweyonoona ne ssaddaaka zaabwe, bwe baayokyanga* buli mwana waabwe omuggulanda mu muliro,+ ndyoke mbazikirize, bamanye nti nze Yakuwa.”’
27 “Kale omwana w’omuntu, yogera n’ab’ennyumba ya Isirayiri, obagambe nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Bwe bati bajjajjammwe bwe banvumaganya bwe bataali beesigwa gye ndi. 28 Bwe nnabatuusa mu nsi gye nnalayira okubawa,+ ne balaba obusozi obuwanvu bwonna n’emiti egirina ebikoola ebingi,+ baatandika okuwaayo ssaddaaka zaabwe, n’ebiweebwayo byabwe ebinyiiza. Baaweerangayo eyo ssaddaaka zaabwe ez’evvumbe eddungi, era n’ebiweebwayo eby’eby’okunywa. 29 Ne mbabuuza nti, ‘Ekifo kino ekigulumivu gye mugenda kirina makulu ki? (Kikyayitibwa Ekifo Ekigulumivu n’okutuusa leero.)’”’+
30 “Kaakano, gamba ab’ennyumba ya Isirayiri nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Nammwe mweyonoona nga bajjajjammwe bwe beeyonoona nga bagoberera ebifaananyi byabwe ebyenyinyaza okwenda nabyo mu by’omwoyo?+ 31 Era n’okutuusa leero mukyeyonoona nga muwaayo ssaddaaka eri ebifaananyi byammwe byonna ebyenyinyaza, nga mwokya* abaana bammwe mu muliro?+ Kale mmwe ab’ennyumba ya Isirayiri, nnyinza ntya okubaddamu bwe munneebuuzaako?”’+
“‘Nga bwe ndi omulamu,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna, ‘sijja kubaddamu.+ 32 N’ekyo kye mulowooza nga mugamba nti, “Ka tubeere ng’amawanga amalala, ng’abantu b’omu nsi endala, abasinza* amayinja n’emiti,”+ tekijja kubaawo.’”
33 “‘Kale nga bwe ndi omulamu,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna, ‘Nja kubafuga n’omukono ogw’amaanyi era ogugoloddwa, era nja kubafukako obusungu bwange.+ 34 N’omukono ogw’amaanyi era ogugoloddwa, era n’obusungu obungi, nja kubaggya mu mawanga era mbakuŋŋaanye okuva mu nsi ez’enjawulo gye mwasaasaanyizibwa.+ 35 Nja kubatwala mu ddungu ery’amawanga mbawozeseze eyo nga tutunuuliganye maaso ku maaso.+
36 “‘Nja kuwoza nammwe nga bwe nnawoza ne bajjajjammwe mu ddungu ly’e Misiri,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna. 37 ‘Nja kubayisa wansi w’omuggo gw’omusumba+ era nkole nammwe endagaano gye mulina okukwata. 38 Naye nja kuggya mu mmwe abanjeemera n’abo aboonoona mu maaso gange.+ Nja kubaggya mu nsi gye balimu ng’abagwira, naye tebajja kuyingira mu nsi ya Isirayiri;+ mujja kumanya nti nze Yakuwa.’
39 “Mmwe ab’ennyumba ya Isirayiri, bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Buli omu ku mmwe agende aweereze ebifaananyi bye ebyenyinyaza.+ Naye oluvannyuma bwe mutampulirize, nja kubaabulira, era temujja kuddamu kuvvoola linnya lyange ettukuvu ne ssaddaaka zammwe era n’ebifaananyi byammwe ebyenyinyaza.’+
40 “‘Ku lusozi lwange olutukuvu, ku lusozi lwa Isirayiri oluwanvu,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna, ‘ab’ennyumba ya Isirayiri bonna gye banampeererezanga mu nsi.+ Eyo gye nnaabasiimira, era eyo gye mujja okundeetera bye munaaba muwaddeyo n’ebibala ebibereberye eby’ebiweebwayo byammwe, ebintu byammwe byonna ebitukuvu.+ 41 Olw’ebiweebwayo byammwe eby’evvumbe eddungi, nja kubasiima bwe ndibaggya mu mawanga era ne mbakuŋŋaanya okuva mu nsi ez’enjawulo gye mwasaasaanyizibwa;+ era nja kutukuzibwa mu maaso g’amawanga okuyitira mu mmwe.’+
42 “‘Era mujja kumanya nti nze Yakuwa+ bwe nnaabatuusa mu nsi ya Isirayiri+ gye nnalayira okuwa bajjajjammwe. 43 Nga muli eyo, mujja kujjukira engeri gye mweyisangamu n’ebyo bye mwakolanga ne mufuuka abatali balongoofu,+ era mujja kukwatibwa ensonyi olw’ebintu ebibi byonna bye mwakola.+ 44 Awo mujja kumanya nti nze Yakuwa, bwe nnaabaako kye nkola olw’erinnya lyange,+ naye nga sikikola okusinziira ku nneeyisa yammwe embi oba olw’ebikolwa byammwe ebikyamu, mmwe ab’ennyumba ya Isirayiri,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”
45 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 46 “Omwana w’omuntu kyuka otunule ku luuyi olw’ebukiikaddyo oyogere eri obukiikaddyo, olangirire ekinaatuuka ku kibira eky’ebukiikaddyo. 47 Gamba ekibira eky’ebukiikaddyo nti, ‘Wulira ekigambo kya Yakuwa. Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Nja kukukumako omuliro+ gwokye emiti gyo gyonna emibisi n’emikalu. Omuliro ogwo tegujja kuzikizibwa,+ era abantu bonna okuva ebukiikaddyo okutuuka ebukiikakkono bajja kubabulwa. 48 Abantu bonna bajja kukiraba nti nze Yakuwa, nze nkikumyeko omuliro, era tegujja kuzikizibwa.”’”+
49 Ne ŋŋamba nti: “Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna! Banjogerako nti, ‘Tagera bugezi ngero?’”