Danyeri
8 Mu mwaka ogw’okusatu ogw’obufuzi bwa Kabaka Berusazza,+ waliwo okwolesebwa nze Danyeri kwe nnafuna okwaddirira kuli okwasooka.+ 2 Nnalaba ebyali mu kwolesebwa, era nnabiraba ndi mu kigo ky’e* Susani*+ ekiri mu ssaza ly’e Eramu.+ Nnekkaanya ebyali mu kwolesebwa era nnali kumpi n’Omugga* Ulaayi. 3 Bwe nnayimusa amaaso, nnalaba endiga ennume+ ng’eyimiridde mu maaso g’omugga, era yalina amayembe abiri.+ Amayembe ago abiri gaali mawanvu, naye erimu lyali lisinga ku linnaalyo obuwanvu, era eryo eryali lisinga obuwanvu lyamera luvannyuma.+ 4 Nnalaba endiga eyo ennume ng’etomera ezza ebugwanjuba, ebukiikakkono, n’ebukiikaddyo; tewaaliwo nsolo ya mu nsiko yali eyinza kuyimirira mu maaso gaayo, era tewaali n’omu yali asobola kununula kintu mu buyinza bwayo.*+ Yali ekola nga bw’eyagala, era yeegulumiza.
5 Bwe nneeyongera okutunula, nnalaba embuzi ennume+ ng’eva ebugwanjuba, ng’etabaala ensi yonna naye ng’ebigere byayo tebituuka ku ttaka. Embuzi eyo yalina ejjembe erirabika ennyo, era lyali wakati w’amaaso gaayo.+ 6 Yali egenda eri endiga eyalina amayembe abiri gye nnalaba ng’eyimiridde mu maaso g’omugga; yali edduka ng’egenda gy’eri ng’erina obusungu bungi nnyo.
7 Nnagiraba ng’esemberera endiga ennume era ng’egisunguwalidde. Yatomera endiga ennume n’emenya amayembe gaayo gombi, era endiga ennume teyalina maanyi gagirwanyisa. Yasuula endiga ennume wansi n’egirinnyirira, era tewali n’omu yali asobola kuginunula mu buyinza bwayo.*
8 Awo embuzi ennume ne yeegulumiza ekisukkiridde, naye olwali okufuuka ey’amaanyi, ejjembe lyayo eddene ne limenyeka, era amayembe ana agaali galabika ennyo ne gamera mu kifo kyalyo, okwolekera empewo ennya ez’eggulu.+
9 Erimu ku mayembe ago lyavaamu ejjembe eddala, nga ttono, era lyakula ne liba n’obuyinza bungi nnyo, ne lisonga ebukiikaddyo, n’ebuvanjuba, n’okwolekera Ensi Ennungi.+ 10 Ejjembe eryo lyakula ne liba n’obuyinza bungi ne lituuka ne ku ggye* ery’oku ggulu, era ne lisuula ku nsi ebimu ku by’omu ggye eryo n’ezimu ku mmunyeenye, era ne libirinnyirira. 11 Lyeguluumiriza ne ku Mukulu w’eggye, era ssaddaaka eya buli lunaku n’emuggibwako era n’ekifo kye ekitukuvu eky’enkalakkalira ne kisuulibwa wansi.+ 12 Olw’okwonoona, eggye awamu ne ssaddaaka byaweebwa ejjembe eryo, ne lisuula amazima wansi, era ne lituukiriza bye lyali lyagala okukola.
13 Ne mpulira omutukuvu omu ng’ayogera, omutukuvu omulala n’agamba oyo eyali ayogera nti: “Okwolesebwa okukwata ku ssaddaaka eya buli lunaku n’okwonoona okuleeta okuzikirira,+ era okukwata ne ku kulinnyirira ekifo ekitukuvu n’eggye, kulibaawo kumala bbanga ki?” 14 N’aŋŋamba nti: “Kulibaawo okumala ennaku* 2,300, era ekifo ekitukuvu kirizzibwa mu mbeera gye kirina okubaamu.”
15 Nze Danyeri bwe nnali ndaba okwolesebwa era nga njagala okutegeera amakulu gaakwo, amangu ago ne ndaba oyo eyali afaanana ng’omuntu ng’ayimiridde mu maaso gange. 16 Awo ne mpulira eddoboozi ly’omuntu nga lyogerera wakati mu Mugga Ulaayi,+ nga ligamba nti: “Gabulyeri,+ yamba oyo okutegeera by’alabye.”+ 17 Awo n’ajja okumpi ne we nnali nnyimiridde. Bwe yajja, nnatya nnyo ne ngwa wansi nga nneevuunise. Awo n’aŋŋamba nti: “Ggwe omwana w’omuntu, tegeera nti okwolesebwa okwo kwa mu kiseera kya nkomerero.”+ 18 Naye bwe yali akyayogera nange, otulo otungi ne tuntwala nga nneevuunise ku ttaka. Awo n’ankwatako n’annyimiriza we nnali nnyimiridde okusooka.+ 19 N’aŋŋamba nti: “Laba ŋŋenda kukusobozesa okutegeera ebiribaawo mu kiseera ekisembayo eky’obusungu bwa Katonda, kubanga okwolesebwa kwa mu kiseera ekigereke eky’enkomerero.+
20 “Endiga ennume ey’amayembe abiri gy’olabye ekiikirira kabaka wa Bumeedi ne kabaka wa Buperusi.+ 21 Embuzi ennume ey’ebyoya ebingi ekiikirira kabaka wa Buyonaani,+ ate ejjembe eddene eribadde wakati w’amaaso gaayo likiikirira kabaka asooka.+ 22 Ejjembe erimenyese, amayembe ana ne gamera mu kifo kyalyo,+ walibaawo obwakabaka bwa mirundi ena obuliva mu ggwanga lye, naye tebuliba bwa mmanyi nga ye.
23 “Mu kiseera ekirisembayo eky’obwakabaka bwabwe, ng’aboonoonyi bamaze okutuukiriza okwonoona kwabwe, walijjawo kabaka atunuza obukambwe era ategeera ebigambo ebizibu okutegeera.* 24 Aliba n’obuyinza bungi, naye taliba nabwo ku bubwe. Alizikiriza mu ngeri ey’ekitalo, era alituukiriza ebyo by’ayagala okukola. Alituusa akabi ku b’amaanyi n’abantu abatukuvu.+ 25 Olw’obukujjukujju bwe alirimba bangi, era alyegulumiza mu mutima gwe. Mu kiseera abantu we baliwulirira nga bali mu mirembe, alizikiriza bangi. Aliyimirira okulwanyisa Omukulu w’abalangira, kyokka alimenyebwa naye si na mukono gwa muntu.
26 “Ebyogeddwa mu kwolesebwa ebikwata ku buwungeezi n’amakya bya mazima, naye okwolesebwa kuno kukuume nga kwa kyama, kubanga kukwata ku kiseera kya mu maaso ddala.”+
27 Naye nze Danyeri, nnawulira nga mpeddemu amaanyi era ne ndwala okumala ennaku.+ Oluvannyuma nnasituka ne nkola emirimu gya kabaka;+ naye nnawuniikirira olw’ebyo bye nnali ndabye, era tewali n’omu yali asobola kubitegeera.+