Danyeri
11 “Kale nze, mu mwaka ogwasooka ogw’obufuzi bwa Daliyo+ Omumeedi, nnayimirira okumuzzaamu amaanyi n’okumunyweza.* 2 Bye ŋŋenda okukugamba kati ge mazima:
“Laba! Bakabaka abalala basatu baliyimirira* mu nsi ya Buperusi, era ow’okuna alikuŋŋaanya eby’obugagga bingi okusinga abalala bonna. Era bw’alifuuka ow’amaanyi olw’eby’obugagga bye, alikubiriza buli omu okulwanyisa obwakabaka bwa Buyonaani.+
3 “Era kabaka ow’amaanyi aliyimirira n’afuga n’obuyinza bungi+ era alikola nga bw’ayagala. 4 Naye bw’alimala okuyimirira, obwakabaka bwe bulimenyebwamu ne bugabanyizibwamu eri empewo ennya ez’eggulu,+ kyokka tebuliweebwa ba zzadde lye,* era obuyinza bwabwe tebulyenkana buyinza bwe yalina ng’afuga, kubanga obwakabaka bwe bulisiguukululwa ne buweebwa abalala.
5 “Ne kabaka ow’ebukiikaddyo alifuuka wa maanyi. Kabaka ono aliba omu ku baami be; naye walibaawo alimusinga amaanyi era alifuga n’obuyinza bungi obusinga obubwe.
6 “Oluvannyuma lw’emyaka, balitta omukago, era muwala wa kabaka ow’ebukiikaddyo alijja eri kabaka ow’ebukiikakkono okukola endagaano. Naye omuwala oyo talisigaza buyinza bwa mukono gwe; ne kabaka taliyimirira newakubadde omukono gwe; era omuwala oyo aliweebwayo awamu n’abo abaamuleeta, n’oyo eyamuzaala, era n’oyo aliba amufudde ow’amaanyi mu biseera ebyo. 7 Omu ku b’eŋŋanda z’omuwala aliyimirira mu kifo kye; alijja eri eggye era alirumba ekigo kya kabaka ow’ebukiikakkono era alibalwanyisa n’awangula. 8 Era alijja e Misiri ng’alina bakatonda baabwe, n’ebifaananyi byabwe eby’ekyuma,* n’ebintu byabwe eby’omuwendo ebya ffeeza n’ebya zzaabu, awamu n’abawambe. Okumala emyaka egiwerako aliyimirira wala okuva awali kabaka ow’ebukiikakkono, 9 oyo alirumba obwakabaka bwa kabaka ow’ebukiikaddyo, naye aliddayo mu nsi ye.
10 “Abaana be balyeteekerateekera olutalo era balikuŋŋaanya eggye ddene nnyo. Alijja n’ayanjaala ng’amataba. Naye aliddayo era alirwana okutuukira ddala ku kigo kye.
11 “Kabaka ow’ebukiikaddyo alisunguwala era aligenda okulwana naye, kwe kugamba, okulwana ne kabaka ow’ebukiikakkono. Alikuŋŋaanya ekibiina kinene naye ekibiina ekyo kiriweebwayo mu mukono gw’oli. 12 Era ekibiina ekyo kiritwalibwa. Omutima gwe gulyegulumiza, era alireetera emitwalo n’emitwalo okugwa; naye enkizo gy’aliba nayo taligikozesa.
13 “Kabaka ow’ebukiikakkono alikomawo era alikuŋŋaanya ekibiina ekinene okusinga ekyasooka; ku nkomerero y’ebiseera, nga wayiseewo emyaka, alijja n’eggye ddene n’ebintu bingi. 14 Mu biseera ebyo walibaawo bangi abaliyimirira okulwanyisa kabaka ow’ebukiikaddyo.
“Abo abakambwe* mu bantu bo balitwalirizibwa ne bagezaako okutuukiriza okwolesebwa; naye balyesittala.
15 “Ne kabaka ow’ebukiikakkono alijja n’assaawo ekifunvu eky’okuyimako okulwanyisa ekibuga era n’awamba ekibuga ekiriko bbugwe. Emikono* egy’ebukiikaddyo tegiriyimirira newakubadde abasajja be abalondemu, era tebaliba na maanyi kuyimirira. 16 Oyo alimulumba alikola nga bw’ayagala, era tewali n’omu aliyimirira mu maaso ge. Aliyimirira mu Nsi Ennungi,+ era aliba n’obuyinza obw’okuzikiriza. 17 Alijja n’amaanyi mangi ag’obwakabaka bwe nga mumalirivu nnyo, era alikola naye endagaano; alikola by’aliba ayagala. Aliweebwa obuyinza okuzikiriza muwala w’abakazi. Omuwala oyo taliyimirira, era talyeyongera kuba wuwe. 18 Alikyusa obwanga n’abwolekeza ebitundu ebiri ku lubalama lw’ennyanja era aliwamba bingi. Era omuduumizi alikomya ekivume ky’alimuleetako, ekivume kye kibe nga tekikyaliwo. Ekivume ekyo alikizza gy’ali. 19 Oluvannyuma alikyusa obwanga okuddayo mu bigo by’omu nsi ye; alyesittala n’agwa, era taliddamu kulabika.
20 “Mu kifo kye muliyimiriramu oyo aleetera omusolooza w’omusolo* okuyita mu bwakabaka obw’ekitiibwa, kyokka mu nnaku ntono alimenyebwa, naye si mu busungu era si mu lutalo.
21 “Era mu kifo kye muliyimiriramu oyo anyoomebwa, era tebalimuwa kitiibwa kya bwakabaka; alijjira mu biseera eby’emirembe, era alifuna obwakabaka okuyitira mu bulimba.* 22 Aliwangula amagye agalinga amataba era galimenyebwa; era n’Omukulu+ w’endagaano+ alimenyebwa. 23 Era olw’okuba baliba basse naye omukago, alikozesa obulimba n’ayimuka n’afuuka wa maanyi okuyitira mu ggwanga ettono. 24 Mu biseera eby’emirembe, aligenda mu bitundu by’essaza ebisingayo okuba ebigagga n’akola bakitaabe ne bajjajjaabe bye bataakola. Aligabira abantu omunyago n’ebintu, era alikola enkwe okulumba ebifo ebiriko bbugwe, naye ekyo kirimala ekiseera kitono.
25 “Alifuna obuvumu* era n’akozesa amaanyi ge gonna okulumba kabaka ow’ebukiikaddyo ng’alina eggye ddene. Ne kabaka ow’ebukiikaddyo alyeteekerateekera olutalo ng’alina eggye ddene nnyo era ery’amaanyi. Naye taliyimirira, kubanga balimusalira enkwe. 26 Abo abalya ku mmere ye ennungi be balimusuula.
“Eggye lye lirikuluggusibwa, era bangi abalittibwa.
27 “Omutima gwa bakabaka bano ababiri guliba gwagala okukola ebintu ebibi, era balituula ku mmeeza emu nga buli omu alimba munne. Naye ebintu tebiribagendera nga bwe baliba baagala, kubanga enkomerero ya mu kiseera ekigereke.+
28 “Aliddayo mu nsi ye n’ebintu bingi nnyo, era omutima gwe gulikyawa endagaano entukuvu. Alikolera ddala by’ayagala n’addayo mu nsi ye.
29 “Mu kiseera ekigereke alikomawo n’alumba ensi ey’ebukiikaddyo. Naye ku luno tekiriba nga bwe kyali mu kusooka, 30 kubanga ebyombo by’e Kittimu+ birimulumba, era alitoowazibwa.
“Aliddayo obusungu bwe n’abwolekeza endagaano entukuvu+ era alikolera ddala by’ayagala; aliddayo era alissa omwoyo gwe ku abo abamenya endagaano entukuvu. 31 Amagye* galiva mu ye ne gayimirira. Galijolonga ekifo ekitukuvu,+ ekigo, era galiggyawo ssaddaaka eya buli lunaku.+
“Galissaawo eky’omuzizo ekizikiriza.+
32 “N’abo abakola ebintu ebibi ne bamenya endagaano alibafuula bakyewaggula ng’akozesa ebigambo eby’obulimba.* Naye abantu abamanyi Katonda waabwe baliwangula era balikolera ddala bye baagala. 33 Abo abalina amagezi+ mu bantu baliyigiriza bangi. Era okumala ennaku, balyesittala olw’ekitala n’olw’omuliro, olw’okuwambibwa n’olw’okunyagibwa. 34 Naye bwe balyesittala baliweebwa obuyambi obutonotono; era bangi balibeegattako naye nga si beesimbu.* 35 Abamu ku abo abalina amagezi balyesittala, abantu basobole okulongoosebwa, okutukuzibwa, n’okuggibwako amabala gonna,+ okutuusa mu kiseera eky’enkomerero; kubanga ya mu kiseera ekigereke.
36 “Kabaka alikola nga bw’ayagala, era alyekuza, ne yeeguluumiriza ku bakatonda bonna; alyogera ne ku Katonda wa bakatonda+ ebintu ebitayogerekeka. Ebintu byonna birimugendera bulungi okutuusa obusungu lwe bulimala okwolekezebwa; kubanga ekisaliddwawo kiteekwa okubaawo. 37 Talissa kitiibwa mu Katonda wa bakitaabe, wadde mu ekyo abakazi kye baagala. Era talissa kitiibwa mu katonda yenna wabula alyeguluumiriza ku buli omu. 38 Naye alissa ekitiibwa mu katonda w’ebigo; alissa ekitiibwa mu katonda bakitaabe gwe bataamanya, ng’akozesa zzaabu ne ffeeza n’amayinja ag’omuwendo era n’ebintu ebirungi.* 39 Alifufuggaza ebigo ebisingayo okuba ebigumu ng’ayambibwako katonda omupya.* Aliwa abo abamuwagira ekitiibwa kingi, era alibafuula bafuzi mu bantu bangi; aligabanyaamu ettaka ng’abaako ky’asasulwa.
40 “Mu kiseera eky’enkomerero, kabaka ow’ebukiikaddyo alisindikagana naye, era kabaka ow’ebukiikakkono alimulumba ng’alinga embuyaga ekunta, ng’alina amagaali, abeebagazi b’embalaasi, n’ebyombo bingi; era aliyingira mu nsi nnyingi n’ayanjaala ng’amataba. 41 Aliyingira ne mu Nsi Ennungi,+ era ensi nnyingi ziryesittala. Naye zino ze zirisimattuka mu mukono gwe: Edomu, Mowaabu, n’ekitundu ekisinga obukulu eky’Abaamoni. 42 Aligolola omukono gwe okulumba ensi nnyingi, era ensi ya Misiri terisimattuka. 43 Aliba n’obuyinza ku by’obugagga ebikusike ebya zzaabu ne ffeeza n’ebintu byonna ebirungi* eby’e Misiri. Era Abalibiya n’Abeesiyopiya balimugoberera.
44 “Naye amawulire agaliva ebuvanjuba n’ebukiikakkono galimweraliikiriza, era mu busungu obungi aligenda okuzikiriza n’okusaanyaawo bangi. 45 Alisimba weema ez’obwakabaka bwe* wakati w’ennyanja ennene n’olusozi olutukuvu olw’Ekitiibwa;*+ era alituuka ku nkomerero ye, so tewaliba amuyamba.