Okubikkulirwa
17 Omu ku bamalayika omusanvu abaalina ebibya omusanvu+ yajja n’aŋŋamba nti: “Jjangu nkulage omusango gwe basalidde malaaya omukulu atuula ku mazzi amangi,+ 2 bakabaka b’ensi gwe baayenda naye,+ era n’abo abatuula ku nsi baatamiira omwenge gw’ebikolwa bye eby’obugwenyufu.”*+
3 N’antwala mu ddungu ng’akozesa amaanyi ag’omwoyo. Ne ndaba omukazi ng’atudde ku nsolo emmyufu eyali ejjudde amannya ag’obuvvoozi era ng’erina emitwe musanvu n’amayembe kkumi. 4 Omukazi yali ayambadde ebyambalo ebya kakobe+ n’ebimyufu, nga yeetonyeetonye ne zzaabu n’amayinja ag’omuwendo ne luulu,+ era ng’akutte mu mukono gwe ekikopo ekya zzaabu ekyali kijjudde ebintu ebyenyinyaza n’ebintu ebitali birongoofu eby’ebikolwa bye eby’obugwenyufu.* 5 Ku kyenyi kye kwali kuwandiikiddwako erinnya lino ery’ekyama: “Babulooni Ekinene, nnyina wa bamalaaya+ era nnyina w’ebintu by’omu nsi ebyenyinyaza.”+ 6 Ne ndaba ng’omukazi oyo atamidde omusaayi gw’abatukuvu n’omusaayi gw’abajulirwa ba Yesu.+
Bwe nnamulaba ne nneewuunya nnyo. 7 Malayika n’aŋŋamba nti: “Lwaki weewuunya? Nja kukubuulira ekyama ekikwata ku mukazi+ ne ku nsolo kw’atudde erina emitwe omusanvu n’amayembe ekkumi:+ 8 Ensolo gy’olabye yaliwo naye teriiwo, naye enaatera okuva mu bunnya+ era egenda kuzikirizibwa. Era abantu ababeera ku nsi—abo abataawandiikibwa mannya gaabwe mu muzingo ogw’obulamu+ okuva ku ntandikwa y’ensi*—balyewuunya, bwe baliraba ng’ensolo yaliwo, n’etebaawo, ate n’eddamu n’ebaawo.
9 “Wano we kyetaagisiza amagezi n’okutegeera: Emitwe omusanvu+ gitegeeza ensozi omusanvu omukazi z’atuddeko. 10 Era gitegeeza bakabaka omusanvu: Abataano baagwa, omu waali, omulala tannajja, naye bw’alijja ajja kubeerawo okumala akaseera katono. 11 Ensolo eyaliwo naye eteriiwo,+ ye kabaka ow’omunaana kyokka ava mu bakabaka omusanvu, era egenda kuzikirizibwa.
12 “Amayembe ekkumi g’olabye gategeeza bakabaka kkumi abatannafuna bwakabaka, naye baweebwa obuyinza nga bakabaka okumala essaawa emu nga bali wamu n’ensolo. 13 Bano balina ekirowoozo kimu era bawa ensolo amaanyi gaabwe n’obuyinza bwabwe. 14 Balirwana n’Omwana gw’Endiga,+ naye olw’okuba ye Mukama w’abakama era Kabaka wa bakabaka,+ Omwana gw’Endiga alibawangula.+ Era n’abo abali naye abaayitibwa, abaalondebwa, era abeesigwa, balibawangula.”+
15 N’aŋŋamba nti: “Amazzi g’olabye malaaya kw’atudde gategeeza abantu n’ebibiina by’abantu n’amawanga n’ennimi.+ 16 Amayembe ekkumi+ g’olabye era n’ensolo,+ birikyawa malaaya,+ birimuzikiriza, birimuleka bukunya, birirya omubiri gwe era birimwokera ddala omuliro.+ 17 Katonda yakiteeka mu mitima gyabyo okutuukiriza ekirowoozo kye,+ kwe kugamba, okutuukiriza ekirowoozo kyabyo nga biwa ensolo+ obwakabaka bwabyo, okutuusa ebigambo bya Katonda lwe birituukirizibwa. 18 Era omukazi+ gw’olabye ategeeza ekibuga ekinene ekifuga bakabaka b’ensi.”