Zekkaliya
7 Awo Yakuwa n’ayogera ne Zekkaliya+ nate mu mwaka ogw’okuna ogw’obufuzi bwa Kabaka Daliyo ku lunaku olw’okuna mu mwezi ogw’omwenda, omwezi gwa Kisulevu.* 2 Awo abantu b’omu Beseri ne batuma Salezeeri ne Legemu-mereki n’abasajja be okwegayirira Yakuwa, 3 nga bagamba bakabona ab’ennyumba* ya Yakuwa ow’eggye ne bannabbi nti: “Nkaabe mu mwezi ogw’okutaano+ era ndekeyo okulya nga bwe mbadde nkola emyaka gino gyonna?”
4 Yakuwa ow’eggye n’ayogera nange nate, n’agamba nti: 5 “Gamba abantu b’omu nsi bonna ne bakabona nti, ‘Bwe mwasiibanga, era bwe mwakaabanga mu mwezi ogw’okutaano ne mu mwezi ogw’omusanvu+ okumala emyaka 70,+ mwasiibiranga nze? 6 Bwe mwalyanga era bwe mwanywanga, temwalyanga era temwanywanga mmwe mmwennyini musobole okwesanyusa? 7 Temugwanidde kuwuliriza bigambo Yakuwa bye yayogera okuyitira mu bannabbi ab’edda,+ Yerusaalemi n’ebibuga ebyali bikyetoolodde we byabeereramu abantu era nga biri mu mirembe, era nga ne mu Negebu ne mu Sefera mulimu abantu?’”
8 Awo Yakuwa n’ayogera ne Zekkaliya nate, n’agamba nti: 9 “Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba, ‘Musale emisango mu bwenkanya+ ne mu butuukirivu; buli omu alage munne okwagala okutajjulukuka+ era amusaasire. 10 Temukumpanya nnamwandu, wadde omwana atalina kitaawe,*+ wadde omugwira,+ wadde omwavu,+ era temuteekateeka mu mitima gyammwe kukola kabi ku bannammwe.’+ 11 Naye baagaana okussaayo omwoyo,+ era baawaganyala,+ era baaziba amatu gaabwe baleme okuwulira.+ 12 Emitima gyabwe baagifuula ng’ejjinja erisingayo obugumu+ era tebaawuliriza mateeka* n’ebigambo Yakuwa ow’eggye bye yabasindikira okuyitira mu bannabbi ab’edda+ ng’akozesa omwoyo gwe; bw’atyo Yakuwa ow’eggye n’asunguwala nnyo.”+
13 “‘Kale nga bwe nnabayitanga+ ne batawuliriza, nabo bwe bankoowoolanga saawulirizanga,’+ Yakuwa ow’eggye bw’agamba. 14 ‘Nnakozesa embuyaga ey’amaanyi ne mbasaasaanya mu mawanga gonna ge baali batamanyi;+ era ensi yasigala matongo nga tewali muntu agiyitamu wadde akomawo mu yo.+ Ensi ennungi baagifuula ekintu eky’entiisa.’”