Yokaana
5 Oluvannyuma lw’ebyo, waaliwo embaga+ y’Abayudaaya era Yesu n’agenda e Yerusaalemi. 2 Mu Yerusaalemi ku Mulyango gw’Endiga+ waliwo ekidiba mu Lwebbulaniya ekiyitibwa Besuzasa, ekyetooloddwa ebigango bitaano. 3 Mu bigango ebyo mwagalamirangamu bangi abalwadde, abazibe b’amaaso, abalema, n’abo abaakoozimba* emikono oba amagulu. 4 *— 5 Naye waaliwo omusajja eyali amaze emyaka 38 nga mulwadde. 6 Yesu bwe yalaba omusajja oyo ng’agalamidde wansi era bwe yakitegeera nti yali amaze ekiseera kiwanvu nga mulwadde, n’amugamba nti: “Oyagala okuwona?”+ 7 Omusajja omulwadde n’amuddamu nti: “Ssebo, sirina muntu ayinza kunteeka mu kidiba ng’amazzi gasiikuuse; bwe mba ŋŋenda okukkayo, ng’omulala ansookayo.” 8 Yesu n’amugamba nti: “Yimuka ositule ekiwempe kyo* otambule.”+ 9 Amangu ago omusajja n’awona, n’asitula ekiwempe kye* n’atambula.
Olunaku olwo lwali lwa Ssabbiiti. 10 Awo Abayudaaya ne bagamba omusajja eyali awonyezeddwa nti: “Leero Ssabbiiti, tokkirizibwa kusitula kiwempe ekyo.”*+ 11 N’abaddamu nti: “Oyo amponyezza y’aŋŋambye nti: ‘Situla ekiwempe kyo* otambule.’” 12 Ne bamubuuza nti: “Ani oyo akugambye nti, ‘Kisitule otambule’?” 13 Naye omusajja eyali awonyezeddwa yali tategedde oyo eyali amuwonyezza, kubanga Yesu yali abulidde mu bantu abangi abaali mu kifo ekyo.
14 Oluvannyuma Yesu n’amusanga mu yeekaalu n’amugamba nti: “Laba, owonyezeddwa. Toddangamu okwonoona, ekintu ekisingawo obubi kireme kukutuukako.” 15 Omusajja n’agenda n’agamba Abayudaaya nti Yesu ye yali amuwonyezza. 16 Eno ye nsonga lwaki Abayudaaya baali bayigganya Yesu kubanga ebintu ebyo yali abikolera ku Ssabbiiti. 17 Naye n’abagamba nti: “N’okutuusa kaakano Kitange akola, era nange nkola.”+ 18 Awo Abayudaaya kyebaava beeyongera okusala amagezi okumutta, kubanga yali takomye ku kya kumenya tteeka lya Ssabbiiti kyokka, naye era yali ayita Katonda Kitaawe,+ ne yeefuula eyenkanankana ne Katonda.+
19 Awo Yesu n’abagamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti, Omwana tayinza kukola kintu kyonna ku bubwe, wabula ebyo by’alaba Kitaawe ng’akola.+ Kubanga ebintu byonna Oyo by’akola n’Omwana by’akola. 20 Kubanga Kitaawe w’omwana ayagala Omwana+ era amulaga ebintu byonna by’akola, era ajja kumulaga emirimu egisinga ku gino, mulyoke mwewuunye.+ 21 Nga Kitange bw’azuukiza abafu ne baba balamu,+ n’Omwana buli gw’ayagala amufuula mulamu.+ 22 Kitange talina gw’asalira musango, wabula obuyinza bwonna obw’okusala omusango abukwasizza Omwana,+ 23 bonna basobole okuwa Omwana ekitiibwa nga bwe bakiwa Kitaawe. Oyo atawa Mwana kitiibwa aba tawa kitiibwa Kitaawe eyamutuma.+ 24 Mazima ddala mbagamba nti oyo awulira ekigambo kyange n’akkiriza Oyo eyantuma alina obulamu obutaggwaawo,+ era tasalirwa musango, wabula aba avudde mu kufa n’ayingira mu bulamu.+
25 “Mazima ddala mbagamba nti ekiseera kijja era kituuse, abafu lwe baliwulira eddoboozi ly’Omwana wa Katonda era abo abataddeyo omwoyo baliba balamu. 26 Nga Kitange bw’alina obulamu mu ye,*+ bw’atyo bw’awadde n’Omwana okuba n’obulamu mu ye.+ 27 Era amuwadde obuyinza okusala omusango,+ kubanga ye Mwana w’omuntu.+ 28 Temwewuunya kino, kubanga ekiseera kijja bonna abali mu ntaana* lwe baliwulira eddoboozi lye+ 29 ne bavaamu; abo abaakolanga ebintu ebirungi balizuukirira obulamu, n’abo abaakolanga ebintu ebibi balizuukirira omusango.+ 30 Tewali kintu na kimu kye nnyinza kukola ku bwange. Nsala omusango nga Kitange bw’aŋŋamba;* era engeri gye nsalamu omusango ya butuukirivu,+ kubanga sinoonya bye njagala wabula eby’oli eyantuma.+
31 “Singa nze nneewaako nzekka obujulirwa, obujulirwa bwange tebuba bwa mazima.+ 32 Waliwo omulala ampaako obujulirwa, era nkimanyi nti obujulirwa bw’ampaako bwa mazima.+ 33 Mwatuma abantu eri Yokaana era n’awa obujulirwa ku mazima.+ 34 Naye seetaaga bujulirwa bwa muntu yenna, wabula njogera ebintu bino musobole okulokolebwa. 35 Omusajja oyo yali ttaala eyaka era emulisa, era mwali beetegefu okusanyukira mu kitangaala kye okumala akaseera.+ 36 Naye obujulirwa bwange businga obwa Yokaana, kubanga emirimu Kitange gye yampa okukola, gino gye nkola, gye gimpaako obujulirwa nti Kitange ye yantuma.+ 37 Ne Kitange eyantuma ampaddeko obujulirwa.+ Temuwuliranga ku ddoboozi lye era temumulabangako,+ 38 era ekigambo kye tekiri mu mmwe kubanga oyo gwe yatuma temumukkiriza.
39 “Munoonyereza mu Byawandiikibwa+ kubanga mulowooza nti okuyitira mu byo mujja kufuna obulamu obutaggwaawo; era ebyo byennyini* bye bimpaako obujulirwa.+ 40 Kyokka temwagala kujja gye ndi+ musobole okufuna obulamu. 41 Sikkiriza kitiibwa kuva eri bantu, 42 naye nkimanyi bulungi nti temwagala Katonda. 43 Nzize mu linnya lya Kitange, naye temunsembezza. Singa omuntu omulala y’azze mu linnya lye, oyo mwandimusembezza. 44 Muyinza mutya okukkiriza nga buli omu ku mmwe agulumiza munne, era nga temunoonya kugulumizibwa okuva eri Katonda omu yekka?+ 45 Temulowooza nti nja kubavunaana omusango eri Kitange; waliwo abavunaana omusango, era oyo ye Musa,+ gwe mukkiririzaamu. 46 Mu butuufu, singa mwakkiriza Musa, mwandinzikirizza kubanga yawandiika ebinkwatako.+ 47 Bwe muba nga temukkiriza bye yawandiika, munakkiriza mutya bye njogera?”