Isaaya
2 Era omwoyo gwa Yakuwa gulimubeerako,+
Omwoyo gw’amagezi+ era ogw’okutegeera,
Omwoyo gw’okubuulirira era ogw’amaanyi,+
Omwoyo gw’okumanya era ogw’okutya Yakuwa.
3 Alifuna essanyu mu kutya Yakuwa.+
Talisala musango ng’asinziira ku ebyo amaaso ge bye galaba,
So talinenya ng’asinziira ku ebyo amatu ge bye gawulira.+
4 Aliramula abanaku mu bwenkanya,*
Era alinenya abantu abalala mu bugolokofu ku lw’abawombeefu ab’omu nsi.
5 Obutuukirivu bwe buliba omusipi gwe yeesiba mu kiwato,
N’obwesigwa bwe buliba omusipi ogw’omu kiwato kye.+
6 Omusege gulibeera* wamu n’omwana gw’endiga,+
N’engo erigalamira n’omwana gw’embuzi,
Ennyana n’empologoma n’ensolo eya ssava biribeera wamu;*+
Era omwana omuto alizirunda.
7 Ente n’eddubu biririira wamu,
Era abaana baazo baligalamira wamu.
Empologoma erirya omuddo ng’ente.+
8 Omwana ayonka alizannyira ku kinnya ky’enswera,
N’omwana eyaakava ku mabeere aliteeka omukono gwe ku kinnya ky’omusota ogw’obusagwa.
Wadde okukola akabi konna ku lusozi lwange lwonna olutukuvu,+
Kubanga ensi erijjula okumanya Yakuwa
Ng’ennyanja bw’ejjula amazzi.+
10 Ku lunaku olwo ekikolo kya Yese+ kiriyimirira ne kiba ng’akabonero* eri amawanga.+
11 Ku lunaku olwo Yakuwa aligolola omukono gwe omulundi ogw’okubiri, okukomyawo abantu be abaliba basigaddewo n’abaggya mu Bwasuli,+ mu Misiri,+ mu Pasuloosi,+ mu Kkuusi,+ mu Eramu,+ mu Sinaali,* mu Kamasi, ne ku bizinga ebiri mu nnyanja.+ 12 Aliwanikira amawanga akabonero* n’akuŋŋaanya abantu ba Isirayiri abaasaasaana,+ era alikuŋŋaanya wamu abantu ba Yuda abaasaasaana n’abaggya mu nsonda ennya ez’ensi.+
13 Obuggya bwa Efulayimu buliba buweddewo,+
Abo abalaga Yuda obukyayi balimalibwawo.
Efulayimu talikwatirwa Yuda buggya,
Ne Yuda talikola Efulayimu bintu ebyoleka obukyayi.+
14 Balikka mbiro ku buserengeto* bw’Abafirisuuti obuli ebugwanjuba;
Nga bali wamu balinyaga abantu b’Ebuvanjuba.
Alikozesa omukka* gwe ogwokya okukuba emyala gyagwo omusanvu,
Era alisomosa abantu nga bali mu ngatto.