Yobu
34 Awo Eriku ne yeeyongera okwogera n’agamba nti:
2 “Muwulirize ebigambo byange, mmwe ab’amagezi;
Mumpulirize mmwe abamanyi ebingi.
3 Kubanga okutu kugezesa ebigambo
Ng’olulimi bwe lulega ku mmere.
4 Ka tweyawulirewo ekituufu;
Ka twesalirewo ekirungi.
6 Nnyinza okwogera eby’obulimba ku ngeri gye ŋŋwanidde okulamulwamu?
Ekiwundu kyange tekisobola kuwona, wadde nga sirina kibi kye nkoze.’+
7 Muntu ki alinga Yobu,
Anywa obunyoomi ng’amazzi?
8 Abeera n’abakozi b’ebibi,
Era abeera wamu n’abantu ababi.+
9 Agambye nti, ‘Omuntu talina ky’aganyulwa
Mu kugezaako okusanyusa Katonda.’+
10 N’olwekyo mumpulirize mmwe abasajja abategeevu:*
Tekiyinzika Katonda ow’amazima okukola ebintu ebibi,+
Tekiyinzika Omuyinza w’Ebintu Byonna okukola ekikyamu!+
11 Kubanga ajja kusasula omuntu okusinziira ku bikolwa bye,+
Era ajja kumuleka atuukibweko ebiva mu makubo ge.
12 Mazima ddala Katonda tayinza kukola bintu bibi;+
Omuyinza w’Ebintu Byonna tayinza kukola kitali kya bwenkanya.+
13 Ani yamuwa omulimu gw’okulabirira ensi,
Era ani yamussaawo okufuga ensi yonna?
14 Bw’abassaako ebirowoozo bye,*
Bw’abaggyako omwoyo gwe n’omukka gwe,+
15 Abantu bonna bafa,
Ne baddayo mu nfuufu.+
16 Bw’oba ng’olina okutegeera, ssaayo omwoyo ku kino;
Wuliriza n’obwegendereza kye ŋŋamba.
17 Omuntu atayagala bwenkanya asaanidde okufuga,
Oba wandinenyezza omuntu ow’amaanyi omutuukirivu?
18 Oyinza okugamba kabaka nti, ‘Tolina mugaso,’
Oba abakungu nti, ‘Muli babi’?+
19 Waliwo Oyo ateekubiira ku ludda lw’abaami,
Era abagagga n’abaavu* abayisa kyenkanyi,+
Kubanga bonna mirimu gya mikono gye.+
20 Bayinza okufa ekibwatukira+ mu matumbi budde;+
Bakankana nnyo ne bafa;
N’ab’amaanyi baggibwawo, naye si na mikono gya bantu.+
21 Kubanga amaaso ga Katonda galaba amakubo g’omuntu,+
Era alaba empenda ze zonna.
23 Kubanga Katonda talina muntu yenna gwe yagerekera ekiseera
Okuyimirira mu maaso ge alamulwe.
24 Amenya ab’amaanyi nga tekimwetaagisizza kunoonyereza,
Era assaawo abalala mu kifo kyabwe.+
26 Abakuba olw’ebikolwa byabwe ebibi,
Mu kifo abantu bonna we basobola okulabira,+
27 Olw’okuba balekedde awo okumugoberera,+
Era tebafaayo ku makubo ge;+
28 Baleetera abaavu okumukaabirira,
N’awulira okukaaba kw’abo abateesobola.+
29 Katonda bw’asirika ani ayinza okumunenya?
Bw’akweka amaaso ge, ani ayinza okumulaba?
K’abe ng’agakwese ggwanga oba muntu, ebivaamu bye bimu,
30 Omuntu atatya Katonda* aleme okufuga+
Oba okutega abantu emitego.
31 Waliwo ayinza okugamba Katonda nti,
‘Mbonerezeddwa wadde nga sizzizza musango;+
32 Njigiriza kye simanyi;
Bwe mba nga nnina ekikyamu kye nnakola, siriddamu kukikola’?
33 Akusasule nga bw’oyagala ng’ate tokkiriza by’asazeewo?
Ggwe olina okusalawo so si nze.
Kale, mbuulira ky’omanyi obulungi.
34 Abantu abategeevu* bajja kuŋŋamba,
—Omuntu yenna ow’amagezi awulira bye njogera ajja kuŋŋamba nti—
35 ‘Yobu ayogeza butamanya,+
Era ebigambo bye si bya magezi.’
36 Yobu k’agezesebwe* mu bujjuvu
Kubanga by’addamu biringa ebyo abantu ababi bye baddamu!