Omubuulizi
9 Bino byonna nnabirowoozaako ne nkiraba nti abatuukirivu n’ab’amagezi, awamu ne bye bakola, biri mu mikono gya Katonda ow’amazima.+ Abantu tebamanyi kwagala na bukyayi ebyaliwo nga tebannabaawo. 2 Ebintu ebituuka ku bantu bonna bye bimu,+ abatuukirivu n’ababi,+ abalungi n’abalongoofu era n’abatali balongoofu, abawaayo ssaddaaka n’abatawaayo ssaddaaka. Tewali njawulo wakati w’omulungi n’omwonoonyi; tewali njawulo wakati w’oyo ayanguyiriza okulayira n’oyo atayanguyiriza kulayira. 3 Kino kye kintu eky’ennaku ekibaawo wansi w’enjuba: Olw’okuba ebituuka ku bantu bonna bye bimu,+ emitima gy’abantu gijjudde ebibi; mu kiseera ky’obulamu bwabwe emitima gyabwe giba gijjudde eddalu, n’ekiddirira kufa.*
4 Buli akyali omulamu aba n’essuubi, kubanga embwa ennamu esinga empologoma enfu.+ 5 Abalamu bamanyi nti balifa,+ naye abafu tebaliiko kye bamanyi,+ era tebakyalina mpeera yonna kubanga beerabirwa; tebakyajjukirwa.+ 6 Okwagala kwabwe, n’obukyayi bwabwe, n’obuggya bwabwe, byaggwaawo, era tebakyenyigira mu kintu kyonna ekikolebwa wansi w’enjuba.+
7 Genda olye emmere yo ng’osanyuka era onywe omwenge gwo n’omutima omusanyufu,+ kubanga Katonda ow’amazima asiima by’okola.+ 8 Ebyambalo byo ka bibeerenga byeru* bulijjo, era tolemanga kusiiga mafuta ku mutwe gwo.+ 9 Nyumirwa obulamu ne mukyala wo+ gw’oyagala ennyo ennaku zonna ez’obulamu bwo Katonda z’akuwadde wansi w’enjuba, ennaku zonna ez’obulamu bwo obutaliimu, kubanga ogwo gwe mugabo gwo mu bulamu ne mu byonna by’ofuba okukola wansi w’enjuba.+ 10 Buli kintu omukono gwo kye gufuna okukola, okikolanga n’amaanyi go gonna, kubanga emagombe* gy’ogenda teriiyo mulimu,+ wadde okukola enteekateeka, wadde okumanya, wadde amagezi.
11 Era nnina ekirala kye ndabye wansi w’enjuba; abawenyuka emisinde, bulijjo si be bawangula empaka, ab’amaanyi, bulijjo si be bawangula olutalo,+ ab’amagezi, bulijjo si be baba n’emmere, abagezi, bulijjo si be baba n’eby’obugagga,+ n’abamanyi ebingi, bulijjo si be baba obulungi,+ kubanga ebiseera ebizibu n’ebintu ebitasuubirwa* bibatuukako bonna. 12 Kubanga omuntu tamanyi kiseera kye.+ Ng’ebyennyanja bwe bikwatibwa mu katimba, era ng’ebinyonyi bwe bikwatibwa mu mutego, n’abaana b’abantu bwe baba bwe batyo ekiseera ekizibu bwe kibatuukako nga tebakisuubira.
13 Era waliwo kye nneetegerezza ekikwata ku magezi wansi w’enjuba, ne kinneewuunyisa nnyo: 14 Waaliwo ekibuga ekitono nga kirimu abantu batono; kabaka ow’amaanyi n’akirumba, n’akizingiza n’akizimbako ekikomera. 15 Mu kibuga ekyo mwalimu omusajja omwavu naye nga wa magezi, era yawonya ekibuga ng’akozesa amagezi ge. Kyokka tewaali n’omu eyajjukira omusajja oyo omwavu.+ 16 Kale ne ŋŋamba nti: ‘Amagezi gasinga amaanyi;+ naye amagezi g’omwavu ganyoomebwa era ebigambo bye tebabiwuliriza.’+
17 Okuwuliriza ebigambo ab’amagezi bye boogera mu bukkakkamu kisinga okuwuliriza okuleekaana ku oyo afuga abasirusiru.
18 Amagezi gasinga eby’okulwanyisa, naye omwonoonyi omu bw’ati ayinza okuzikiriza ebirungi bingi.+