Isaaya
54 “Yogerera waggulu n’essanyu, ggwe omukazi omugumba atazaalangako!+
Sanyuka era leekaana olw’essanyu+ ggwe atalumwangako bisa,+
Kubanga abaana b’oyo eyayabulirwa bangi
Okusinga abaana b’omukazi alina omusajja,”*+ Yakuwa bw’agamba.
Leega emitanda gya weema yo ey’ekitiibwa.
Teweeteerawo kkomo, wanvuya emiguwa gyo egya weema,
Era nyweza enninga zo eza weema.+
3 Kubanga oligaziya ensalo zo ku mukono ogwa ddyo n’ogwa kkono.
Ezzadde lyo liritwala amawanga,
Era liribeera mu bibuga ebyasigala amatongo.+
Olyerabira obuswavu bw’omu buvubuka bwo,
Era tolijjukira bwe waweebuuka ng’oli nnamwandu.”
5 “Kubanga Omutonzi wo ow’Ekitalo+ alinga balo,*+
Yakuwa ow’eggye lye linnya lye,
Era Omutukuvu wa Isirayiri ye Mununuzi wo.+
Aliyitibwa Katonda w’ensi yonna.+
6 Kubanga Yakuwa yakuyita ng’olinga omukazi eyalekebwawo era omunakuwavu,*+
Ng’olinga omukazi eyawasibwa mu buvubuka n’alekebwawo,” Katonda wo bw’agamba.
7 “Kubanga nnakulekawo okumala akaseera katono,
Naye ndikukomyawo n’okusaasira okungi.+
8 Mu busungu obungi* nnakukweka amaaso gange okumala akaseera katono,+
Naye ndikusaasira n’okwagala okutajjulukuka okw’emirembe n’emirembe,”+ Yakuwa, Omununuzi wo,+ bw’agamba.
9 “Kino kiringa ennaku za Nuuwa gye ndi.+
Nga bwe nnalayira nti amazzi ga Nuuwa tegaliddamu kubuutikira nsi,+
Bwe ntyo ndayira nti siriddamu kukusunguwalira wadde okukukambuwalira.+
10 Ensozi ziyinza okuggibwawo
N’obusozi buyinza okunyeenyezebwa,
Naye okwagala kwange okutajjulukuka tekulikuggibwako,+
N’endagaano yange ey’emirembe terinyeenyezebwa,”+ Yakuwa, Oyo akusaasira,+ bw’agamba.
11 “Ggwe omukazi abonaabona,+ ayuuyizibwa omuyaga, atalina amubudaabuda,+
Nsiba amayinja go nga nkozesa obudongo,*
Era omusingi gwo nguzimbisa safiro.+
12 Ndikola ebitikkiro byo nga bya mayinja amatwakaavu* ag’omuwendo,
Emiryango gyo nga gya mayinja agamasamasa,*
N’ensalo zo zonna nga za mayinja ag’omuwendo.
14 Olinywezebwa mu butuukirivu.+
Okubonaabona kulikubeera wala nnyo,+
Tolitya kintu kyonna era tewaliba kikutiisa,
Kubanga tekirikusemberera.+
15 Bwe walibaawo akulumba,
Si nze ndiba mmulagidde.
Buli alikulumba talikuwangula.”+
16 “Laba! Nze nnatonda omuweesi,
Oyo afukuta omuliro gw’amanda
N’akola eky’okulwanyisa.
Era nze nnatonda omusajja azikiriza.+
17 Tewali kya kulwanyisa ekiriweesebwa okukulwanyisa ekiriba n’omukisa,+
Era buli lulimi oluligolokoka okuwoza naawe olirusinga.
Buno bwe busika bw’abaweereza ba Yakuwa,
Era obutuukirivu bwabwe buva gye ndi,” Yakuwa bw’agamba.+