Yokaana
21 Oluvannyuma lw’ebyo, Yesu yaddamu n’alabikira abayigirizwa be, ku Nnyanja y’e Tiberiya. Yabalabikira mu ngeri eno: 2 Simooni Peetero ne Tomasi (ayitibwa Omulongo),+ ne Nassanayiri+ ow’e Kaana eky’e Ggaliraaya, ne batabani ba Zebedaayo+ n’abayigirizwa abalala babiri, bonna baali wamu. 3 Simooni Peetero n’abagamba nti: “Ŋŋenda kuvuba.” Ne bamuddamu nti: “Naffe ka tugende naawe.” Awo ne bagenda ne balinnya eryato, naye ekiro ekyo tebalina kye baakwasa.+
4 Kyokka, obudde bwe bwali bukya, Yesu n’ayimirira ku lubalama lw’ennyanja, naye abayigirizwa be ne batamutegeera.+ 5 Yesu n’abagamba nti: “Abaana, mulinawo eky’okulya kyonna?”* Ne bamuddamu nti: “Nedda!” 6 N’abagamba nti: “Musuule akatimba ku luuyi olwa ddyo olw’eryato, mujja kukwasa.” Ne bakasuula, naye ne batasobola kukasikayo olw’okuba ebyennyanja byali bingi.+ 7 Awo omuyigirizwa Yesu gwe yali ayagala ennyo+ n’agamba Peetero nti: “Oyo Mukama waffe!” Simooni Peetero olwawulira nti ye Mukama waffe, n’assaako olugoye olw’okungulu kubanga yali bwereere,* ne yebbika mu nnyanja. 8 Naye abayigirizwa abalala ne bajjira mu kaato akatono, nga basika akatimba akaali kajjudde ebyennyanja, kubanga tebaali wala okuva ku lubalama; baali balwesudde ffuuti nga 300.*
9 Bwe baatuuka ku lubalama, ne balaba omuliro ogw’amanda nga kuliko ebyennyanja n’omugaati. 10 Yesu n’abagamba nti: “Muleete ku byennyanja bye muva okuvuba.” 11 Awo Simooni Peetero n’alinnya mu lyato, n’asika akatimba n’akazza ku lubalama nga kajjudde ebyennyanja ebinene; byali 153. Wadde byali bingi, akatimba tekaakutuka. 12 Yesu n’abagamba nti: “Mujje mulye eky’enkya.” Tewali muyigirizwa n’omu eyafuna obuvumu okumubuuza nti: “Ggwe ani?” kubanga baali bakitegedde nti ye Mukama waffe. 13 Yesu n’ajja n’akwata omugaati n’abawa era n’akwata n’ebyennyanja n’abawa. 14 Guno gwali mulundi gwa kusatu+ nga Yesu alabikira abayigirizwa be oluvannyuma lw’okuzuukizibwa mu bafu.
15 Bwe baamala okulya eky’enkya, Yesu n’agamba Simooni Peetero nti: “Simooni mutabani wa Yokaana, onjagala okusinga bino?” N’amuddamu nti: “Yee, Mukama wange, omanyi nti nkwagala.” N’amugamba nti: “Liisanga endiga zange.”+ 16 N’addamu n’amubuuza omulundi ogw’okubiri nti: “Simooni mutabani wa Yokaana, onjagala?” N’amuddamu nti: “Yee, Mukama wange, omanyi nti nkwagala.” N’amugamba nti: “Lundanga endiga zange.”+ 17 N’amubuuza omulundi ogw’okusatu nti: “Simooni mutabani wa Yokaana, onjagala?” Peetero n’anakuwala olw’okuba yamubuuza omulundi ogw’okusatu nti: “Onjagala?” N’amuddamu nti: “Mukama wange, omanyi ebintu byonna; okimanyi nti nkwagala.” Yesu n’amugamba nti: “Liisanga endiga zange.+ 18 Mazima ddala nkugamba nti bwe wali omuto, wayambalanga n’ogenda gy’oyagala. Naye bw’olikaddiwa, oligolola emikono gyo omulala n’akwambaza era n’akutwala gy’otoyagala.” 19 Ekyo yakyogera ng’alaga engeri Peetero gy’alifaamu okugulumiza Katonda. Bwe yamala okwogera ekyo, n’amugamba nti: “Weeyongere okungoberera.”+
20 Peetero bwe yakyuka, n’alaba omuyigirizwa Yesu gwe yali ayagala ennyo+ ng’abagoberera, era nga bwe baali ku kijjulo ye yasembera okumpi ne Yesu n’agamba nti: “Mukama waffe, ani agenda okukulyamu olukwe?” 21 Peetero bwe yamulaba, n’agamba Yesu nti: “Mukama waffe, ate ono?” 22 Yesu n’amugamba nti: “Bwe mba nga njagala abeerewo okutuusa lwe ndikomawo, ekyo kiba kikweraliikiririza ki? Ggwe weeyongere okungoberera.” 23 Awo ebigambo ebyo ne bibuna mu b’oluganda nti omuyigirizwa oyo yali tajja kufa. Naye Yesu teyagamba nti yali tajja kufa, wabula yagamba nti: “Bwe mba nga njagala abeerewo okutuusa lwe ndikomawo, ekyo kiba kikweraliikiririza ki?”
24 Oyo ye muyigirizwa+ awa obujulirwa ku bintu bino era eyabiwandiika, era tumanyi nti obujulirwa bw’awa bwa mazima.
25 Mu butuufu, waliwo ebintu ebirala bingi Yesu bye yakola era nga singa byonna byawandiikibwa, ndowooza ensi teyandisobodde kugyaamu mizingo egyandiwandiikiddwa.+